EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 38-42
Okusabira Abalala Kisanyusa Yakuwa
Yakuwa yagamba Yobu okusabira Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali
- Yakuwa yagamba Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali okugenda eri Yobu baweeyo ekiweebwayo ekyokebwa 
- Yobu yalina okubasabira 
- Yobu bwe yamala kubasabira, yaweebwa emikisa mingi 
Yakuwa yawa Yobu emikisa mingi olw’okukkiriza kwe n’olw’obugumiikiriza bwe
- Yakuwa yakomya okubonaabona kwa Yobu, era n’amuwonya 
- Mikwano gya Yobu n’ab’eŋŋanda ze baamubudaabuda olw’ebyo byonna ebyamutuukako 
- Yakuwa yaddizaawo Yobu eby’obugagga bye, era nga bikubisaamu emirundi ebiri bye yali afiiriddwa 
- Yobu ne mukyala we baazaala abaana abalala kkumi 
- Yobu yawangaala emyaka emirala 140, n’alaba bazzukulu be okutuukira ddala ku bannakasatwe