Erifaazi:
-   Kirabika yali ava mu Temani ekyali mu nsi ya Edomu. Temani kyogerwako mu Yeremiya 49:7 ng’awaali wasibuka amagezi g’Abeedomu 
-   Kirabika Erifaazi ye yali asinga banne obukulu n’ekitiibwa, era ye yabasooka okwogera. Yayogera emirundi esatu era yayogera ebigambo bingi okusinga banne ababiri 
Ebitali bituufu Erifaazi bye yayogera:
-   Yabuusabuusa obugolokofu bwa Yobu era n’agamba nti Katonda teyeesiga baweereza be (Yobu 4, 5) 
-   Yagamba nti Yobu yali yeetulinkiriza, nti Yobu yali mukozi wa bibi, era nti yali tatya Katonda (Yobu 15) 
-   Yagamba nti Yobu yali wa mululu, nti teyali mwenkanya era nti omuntu si wa mugaso eri Katonda (Yobu 22) 
Birudaadi:
-   Yali muzzukulu wa Suuli. Kirabika yali abeera kumpi n’Omugga Fulaati 
-   Ye yali ow’okubiri okwogera, era naye yayogera emirundi esatu. Ebigambo bye byali bitono naye nga biruma okusinga ebya Erifaazi 
Ebitali bituufu Birudaadi bye yayogera:
-   Yagamba nti abaana ba Yobu baayonoona era nti kyabagwanira okuttibwa. Ate era yagamba nti ne Yobu yali tatya Katonda (Yobu 8) 
-   Yagamba nti Yobu yali mukozi wa bibi (Yobu 18) 
-   Yagamba nti tekigasa muntu kukuuma bugolokofu bwe (Yobu 25) 
Zofali:
-   Yali Munaamasi, era kirabika yali abeera mu bukiikakkono bwa Buwalabu 
-   Ye yali ow’okusatu okwogera era yayogera emirundi ebiri gyokka. Ye yasinga okwogera ebigambo ebirumya n’okunenya Yobu 
Ebitali bituufu Zofali bye yayogera:
-   Yagamba nti ebigambo bya Yobu byali tebiriimu nsa, era n’agamba Yobu okulekera awo okukola ebintu ebibi (Yobu 11) 
-   Yagamba nti Yobu yali mubi nnyo era nti Yobu yali anyumirwa okukola ebibi (Yobu 20)