EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 69-73
Abantu ba Yakuwa Baagala Nnyo Okusinza okw’Amazima
Tusaanidde okukyoleka nti twagala nnyo okusinza okw’amazima
Dawudi yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu obulamu bwe bwonna
Dawudi teyagumiikiriza muntu yenna avumaganya oba atassa kitiibwa mu linnya lya Yakuwa
Abakulu basobola okuyamba abato okuba abanyiikivu
Omuwandiisi wa Zabbuli eno, oboolyawo nga yali Dawudi, yayagala okuyamba omulembe ogwandizzeewo okumanya ebikwata ku Yakuwa
Abazadde n’Abakristaayo abalina obumanyirivu basobola okutendeka abato
Okwagala kujja kutukubiriza okubuulira abantu ebyo Obwakabaka bye bugenda okukola
Olunyiriri 3—Buli omu ajja kuba mu mirembe
Olunyiriri 12—Abaavu bajja kununulibwa
Olunyiriri 14—Tewajja kubaawo bikolwa bya bukambwe
Olunyiriri 16—Wajja kubaawo emmere nnyingi