Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Lwaki abantu abamu bagamba nti Zabbuli 12:7 lukwata ku ‘bigambo bya Yakuwa’ ebyogerwako mu olunyiriri 6, ate nga yo Enkyusa ey’Ensi Empya eraga nti lukwata ku ‘banaku’ aboogerwako mu lunyiriri 5?
Ennyiriri eziriraanye olunyiriri olwo ziraga nti lwogera ku bantu.
Mu Zabbuli 12:1-4, wagamba nti: “Abantu ab’amazima baweddewo mu bantu.” Kati ate lowooza ku ebyo ebiri mu Zabbuli 12:5-7, awava ekibuuzo kyaffe. Ennyiriri ezo zigamba bwe ziti:
“‘Olw’okuba abanaku banyigirizibwa,
Olw’okuba abaavu basinda,
Nja kusituka mbeeko kye nkola,’ Yakuwa bw’agamba.
‘Nja kubawonya abo ababajooga.’
Ebigambo bya Yakuwa birongoofu;
Biringa ffeeza alongoosereddwa mu kyoto eky’ebbumba, n’aggibwamu amasengere emirundi musanvu.
Ojja kubakuuma, Ai Yakuwa;
Buli omu ku bo ojja kumuwonya abantu b’omulembe guno emirembe gyonna.”
Olunyiriri 5 lulaga ekyo Katonda ky’ayogera ku ‘banaku.’ Lulaga nti ajja kubayamba.
Olunyiriri 6 lugattako nti “ebigambo bya Yakuwa birongoofu,” ‘nga ffeeza.’ Abakristaayo ab’amazima bakkiriziganya n’ebigambo ebyo.—Zab. 18:30; 119:140.
Kati ate lowooza ku ekyo ekyogerwako mu lunyiriri oluddako. Zabbuli 12:7, lugamba nti: “Ojja kubakuuma, Ai Yakuwa; buli omu ku bo ojja kumuwonya abantu b’omulembe guno emirembe gyonna.” Baani abo aboogerwako?
Olw’okuba olunyiriri 6 lwogera ku ‘bigambo bya Yakuwa,’ abamu bagamba nti olunyiriri 7 oluluddirira lwogera ku bigambo bya Yakuwa nti bye bijja okukuumibwa. Tukimanyi nti Katonda akuumye Bayibuli wadde nga wabaddewo abantu bangi abagezezzaako okugiwera n’okugisaanyaawo.—Is. 40:8; 1 Peet. 1:25.
Kyokka n’ekyo ekyogerwako mu lunyiriri 5 kituufu. Yakuwa azze akuuma era ng’alokola “abanaku” n’abo ‘abanyigirizibwa,’ era ajja kweyongera okukola bw’atyo.—Yob. 36:15; Zab. 6:4; 31:1, 2; 54:7; 145:20.
Kati olwo abantu be boogerwako mu lunyiriri 7 oba ebigambo bya Yakuwa bye byogerwako?
Ennyiriri endala eziri mu zabbuli eyo ziraga nti abantu be boogerwako.
Zabbuli 12:1, 2 woogera ku bantu abatali beesigwa abaviirako abalala okubonaabona. Olunyiriri 3 lulaga nti Yakuwa ajja kubonereza abo abakozesa obubi olulimi lwabwe. Zabbuli eyo eraga nti tusobola okwesiga Katonda nti ajja kubaako ky’akolawo ku lw’abantu be, kubanga ebigambo bye birongoofu.
N’olwekyo, olunyiriri 7 lulaga nti Yakuwa ajja “kubakuuma,” kwe kugamba, abo abanyigirizibwa abantu ababi.
Mu kiwandiiko ky’Abamasoleti, olunyiriri 7 lugamba nti “ojja kubakuuma.” So ng’ate mu Septuagint ey’Oluyonaani olunyiriri olwo lugamba nti “ojja kutukuuma.” N’olwekyo, olunyiriri olwo luteekwa okuba nga lwogera ku bantu abeesigwa era abanyigirizibwa. Ate era olunyiriri 7 lulaga nti “buli omu ku bo,” kwe kugamba, abantu abeesigwa, ajja kukuumibwa aleme kutuusibwako kabi “abantu b’omulembe guno,” ababi. (Zab. 12:7, 8) Olunyiriri 7 mu Aramaic Targums lugamba nti: “Ggwe, AI MUKAMA, ojja kukuuma abatuukirivu, ojja kubawonya abantu b’omulembe guno omubi emirembe gyonna. Ababi bali buli wamu, balinga ekinoso ekinuuna omusaayi gw’abantu.” Ekyo nakyo kiraga nti ebyo ebiri mu Zabbuli 12:7 tebyogera ku bigambo bya Katonda.
N’olwekyo, olunyiriri olwo luwa “abantu ab’amazima” essuubi. Lulaga nti Katonda ajja kubaako ky’akolawo okubayamba