EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 135-141
Twakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo
Dawudi yafumiitiriza ku ngeri za Katonda ezeeyolekera mu bitonde. Yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.
Okufumiitiriza ku bitonde kyaleetera Dawudi okutendereza Yakuwa:
“Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo”
“Amagumba gange tegaakukisibwa bwe nnali nkolebwa mu kyama, bwe nnali nkulira mu lubuto lwa mmange”
“Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo”