EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ENGERO 27-31
Bayibuli Ennyonnyola Omukyala Omulungi bw’Abeera
Engero essuula 31 erimu obubaka obw’amaanyi Kabaka Lamweri bwe yafuna okuva eri maama we. Maama we yamulaga bye yali asaanidde okulowoozaako ng’anoonya omukyala omulungi.
Omukyala omulungi aba yeesigika
Awa omwami we amagezi amalungi nga waliwo ekisalibwawo mu maka, naye era asigala agondera omwami we
Omwami we amwesiga nti waliwo by’asobola okusalawo wadde nga tasoose kumwebuuzaako
Omukyala omulungi aba mukozi
Tadiibuuda bintu era aba mumativu n’ebyo bye balina; ab’omu maka ge abafunira eby’okwambala era tebabulwa kya kulya
Akola nnyo era alabirira ab’omu maka ge emisana n’ekiro
Omukyala omulungi aba yettanira eby’omwoyo
Atya Katonda era afuba okuba n’enkolagana ennungi naye