OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuwombeefu
LWAKI KIKULU:
- Bwe tuba abawombeefu tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Zb 138:6 
- Bwe tuba abawombeefu tuba n’enkolagana ennungi n’abalala.—Baf 2:3, 4 
- Kibi nnyo okuba n’amalala.—Nge 16:18; Ezk 28:17 
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
- Saba abalala bakuwe amagezi, era okolera ku magezi ge baba bakuwadde.—Zb 141:5; Nge 19:20 
- Ba mwetegefu okuweereza abalala.—Mat 20:25-27 
- Tokkiriza nkizo oba kitone ky’olina kukuleetera kufuna malala.—Bar 12:3 
Nnyinza ntya okwoleka obuwombeefu mu ngeri esingako?
MULABE VIDIYO, WEEWALE EBIYINZA OKUKUVIIRAKO OBUTABA MWESIGWA—AMALALA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Engeri gye tweyisaamu nga tuwabuddwa eraga etya obanga tuli ba malala oba bawombeefu? 
- Okusaba kutuyamba kutya okuba abawombeefu? 
- Tuyinza tutya okulaga nti tuli bawombeefu?