LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 3 lup. 14-15
  • Osobola Okufuna Emikisa Gya Katonda Emirembe Gyonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osobola Okufuna Emikisa Gya Katonda Emirembe Gyonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Similar Material
  • Biki Bye Tuyigira ku Byamagero Yesu Bye Yakola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yayagala Nnyo Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Tuyiga Ebikwata ku Katonda Okuyitira mu Bannabbi Be
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Kristo—Amaanyi ga Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 3 lup. 14-15
Abantu ab’amawanga ag’enjawulo bali wamu mu nsi empya era basanyufu.

“Ensi ejja kubaza emmere; Katonda, Katonda waffe, ajja kutuwa omukisa.”​—ZABBULI 67:6

Osobola Okufuna Emikisa gya Katonda Emirembe Gyonna

Katonda yasuubiza nnabbi Ibulayimu nti omu ku bazzukulu be yandisobozesezza “amawanga gonna ag’oku nsi” okufuna omukisa. (Olubereberye 22:18) Muzzukulu wa Ibulayimu oyo yandibadde ani?

Emyaka nga 2,000 emabega, Katonda yawa Yesu, muzzukulu wa Ibulayimu, amaanyi okukola ebyamagero. Ebyamagero ebyo byalaga nti Yesu ye muzzukulu wa Ibulayimu amawanga mwe gandiyitidde okufuna omukisa.​—Abaggalatiya 3:14.

Ebyamagero Yesu bye yakola byayamba abantu okulaba nti Katonda gwe yalonda okuwa abantu emikisa, era byalaga engeri Katonda gy’ajja okumukozesaamu okuwa abantu emikisa emirembe gyonna. Weetegereze engeri ebyamagero Yesu bye yakola bwe biraga ezimu ku ngeri ze ennungi.

Wa kisa​—Yesu yawonya abalwadde.

Lumu, omusajja omugenge yeegayirira Yesu amuwonye. Yesu yamukwatako era n’amugamba nti: “Njagala!” Amangu ago, omusajja oyo n’awona ebigenge.​—Makko 1:40-42.

Mugabi​—Yesu yaliisa abantu abaali balumwa enjala.

Yesu yali tayagala bantu kulumwa njala. Emirundi egisukka mu gumu, mu ngeri ey’ekyamagero yaliisa abantu nkumi na nkumi ng’akozesa emigaati mitono n’ebyennyanja bitono. (Matayo 14:17-21; 15:32-38) Bonna baalya ne bakkuta, era eby’okulya ne bifikkanawo.

Musaasizi​—Yesu yazuukiza abafu.

Yesu ‘yasaasira’ nnamwandu eyali afiiriddwa omwana we omu yekka era eyali talina muntu yenna wa kumulabirira. Yesu yazuukiza omwana wa nnamwandu oyo.​—Lukka 7:12-15.

EMIKISA EGY’OLUBEERERA KU NSI

Ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti Katonda asobola okuwa abantu bonna emikisa. Mu kiseera ekitali kya wala Yesu bw’anadda nga bwe yasuubiza, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ajja kumusobozesa okukola ebyamagero ebisinga n’ebyo bye yakola ng’akyali ku nsi!

Obulamu buliba butya ku nsi nga Katonda atuukirizza ekyo kye yasuubiza Ibulayimu? Abo abakola Katonda by’ayagala ‘bajja kusikira ensi, era bajja kuba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.’ (Zabbuli 37:11) Ate era “okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:4.

Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okuba abalamu ku nsi emirembe gyonna! Tukukubiriza okugenda ku mukutu www.pr418.com/lg omanye ebirala Katonda by’anaatera okukolera abantu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share