LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 3 lup. 13
  • Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BIGAMBA
  • TUYINZA TUTYA OKUYAMBA OMUNTU ALI MU BWETAAVU
  • “Omusamaliya Omulungi”
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okkiriza Obuyambi bwa Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Kiki Ekisobola Okumalawo Obusosoze mu Mawanga?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Oli ‘Mugagga mu Maaso ga Katonda’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 3 lup. 13
Omusajja akozesa mmaapu okulagirira munne.

Osobola okuyamba abalala, ka babe ba myaka emeka, ba ggwanga ki, oba ba ddiini ki?

Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna

Abantu bangi mu nsi tebalina mmere emala na wa kusula. Abamu beetaaga kubawa ssuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Mikisa ki gye tufuna bwe tuyamba abantu ng’abo?

EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BIGAMBA

“Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.”​—ENGERO 19:17.

TUYINZA TUTYA OKUYAMBA OMUNTU ALI MU BWETAAVU

Yesu yagera olugero olukwata ku musajja eyagwa mu banyazi ne bamukuba nnyo, ne bamuleka ng’abulako katono okufa. (Lukka 10:29-37) Omuntu eyali ayitawo yayamba omusajja oyo wadde nga teyali wa ggwanga lye.

Omuntu oyo ow’ekisa teyakoma ku kuwa buwi musajja eyagwa mu batemu bujjanjabi obusookerwako n’ebintu eby’okukozesa, naye era yamubudaabuda.

Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? Yesu yali alaga nti tusaanidde okukola kyonna kye tusobola okuyamba omuntu ali mu bwetaavu. (Engero 14:31) Ebyawandiikibwa Ebitukuvu biyigiriza nti Katonda anaatera okuggyawo obwavu n’okubonaabona. Naye oyinza okwebuuza nti, ekyo Katonda anaakikola atya era ddi? Mu kitundu ekiddako, ojja kulaba ebintu ebirungi Omutonzi waffe ow’okwagala by’ateeseteese okutukolera mu biseera eby’omu maaso.

“KATONDA TANJABULIRANGA”!

Byayogerwa omusajja omu eyava mu Gambia

“Bwe nnatuuka mu Bulaaya, saalina mulimu, ssente, wadde aw’okusula. Bye njize mu Byawandiikibwa ebitukuvu binnyambye okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa, omukozi, era n’okuyamba abalala mu kifo ky’okusaba obuyambi buli kiseera. Katonda tanjabuliranga era ampadde emikisa mingi!”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share