LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 3 lup. 12
  • Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BYOGERA KU KWAGALA
  • KYE KITEGEEZA OKWAGALA BANTU BANNAFFE
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Tuyinza Tutya Okukuuma Okwagala Kwe Tulina eri Abalala nga Kunywevu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 3 lup. 12
Omusajja Omusamaliya ayogerwako mu lugero lwa Yesu, asiiga amafuta ku kiwundu ky’omusajja eyakubibwa abanyazi n’alekebwa ku mabbali g’ekkubo.

Okwagala kutuleetera okuyamba abali mu bwetaavu

Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala

Olw’okuba ffenna twava mu muntu omu, Adamu, tuli baluganda. Wadde ng’abantu ab’oluganda basuubirwa okuba nga baagalana era nga bawaŋŋana ekitiibwa, si bwe kiri leero. Ekyo Omutonzi waffe si ky’ayagala.

EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BYOGERA KU KWAGALA

“Oyagalanga [muntu] munno nga bwe weeyagala.”​—EBY’ABALEEVI 19:18.

“Mweyongere okwagala abalabe bammwe.”​—MATAYO 5:44.

KYE KITEGEEZA OKWAGALA BANTU BANNAFFE

Weetegereze engeri okwagala gye kunnyonnyolwamu mu 1 Abakkolinso 13:4-7:

“Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe bakugumiikiriza, bwe bakulaga ekisa era ne batakusunguwalira ng’okoze ensobi?

“Okwagala tekukwatibwa buggya.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe baba nga bakwekengera buli kiseera oba nga bakukwatirwa obuggya?

Okwagala “tekwenoonyeza byakwo.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe baba nga bakuwuliriza bulungi ng’owa endowooza yo era nga tebakalambira ku ndowooza yaabwe?

Okwagala “tekusiba kiruyi.”

Kirowoozeeko: Katonda mwetegefu okusonyiwa abantu ababa beenenyezza. “Taatunoonyengamu nsobi, era taasibenga kiruyi mirembe na mirembe.” (Zabbuli 103:9) Kitusanyusa nnyo singa omuntu gwe tuba tunyiizizza atusonyiwa. N’olwekyo, tusaanidde okusonyiwa abalala.​—Zabbuli 86:5.

Okwagala “tekusanyukira bitali bya butuukirivu.”

Kirowoozeeko: Tekituyisa bulungi abalala bwe basanyuka nga tufunye ebizibu. N’olwekyo, tetusaanidde kusanyuka ng’abalala bafunye ebizibu ne bwe kiba nti baatuyisa bubi.

Okusobola okufuna emikisa gya Katonda, tulina okwagala abantu bonna ka babe ba ggwanga ki oba ba ddiini ki. Emu ku ngeri gye tuyinza okukikolamu kwe kuyamba abali mu bwetaavu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share