OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga Kwa Muwendo?
Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwawa Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse essuubi nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo. Mu nnaku zino ez’enkomerero okusinza okulongoofu ‘kunywezeddwa waggulu w’ensozi,’ era ffe bamu ku abo abava mu mawanga gonna abeegasse ku kusinza okulongoofu. (Is 2:2) Otera okufumiitiriza ku nkizo gy’olina ey’okumanya Yakuwa n’okumuweereza?
EMIKISA GYE TUFUNA MU KUSINZA OKULONGOOFU:
Tufuna emmere nnyingi ey’eby’omwoyo etuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu mu bulamu, amagezi agatuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu, n’essuubi ekkakafu.—Is 48:17, 18; 65:13; Bar 15:4
Tulina enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda omulimu ogutuleetera essanyu.—Bik 20:35; 1Ko 3:9
Tulina “emirembe gya Katonda” egituyamba okusigala nga tuli banywevu ne mu biseera ebizibu.—Baf 4:6, 7
Tulina omuntu ow’omunda omuyonjo.—2Ti 1:3
Tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.—Zb 25:14
Nnyinza ntya okulaga nti okusinza okulongoofu nkutwala nga kwa muwendo?