EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOWEERI 1-3
“Batabani Bammwe ne Bawala Bammwe Balyogera Obunnabbi”
Abakristaayo abaafukibwako amafuta beenyigira mu mulimu gw’okwogera obunnabbi. Boogera ku “bintu bya Katonda eby’ekitalo” era babuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ (Bik 2:11, 17-21; Mat 24:14) Ab’endiga endala babayambako nga nabo beenyigira mu mulimu guno
‘Okukoowoola erinnya lya Yakuwa’ kitegeeza ki?
- Okumanya erinnya eryo 
- Okuliwa ekitiibwa 
- Okwesiga nnannyini linnya eryo 
Weebuuze, ‘Nnyinza ntya okuyamba abaafukibwako amafuta mu mulimu ogwabaweebwa?’