EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OBADIYA 1–YONA 4
Yigira ku Nsobi Zo
Ebikwata ku Yona biraga nti Yakuwa tatwabulira wadde nga tukoze ensobi. Kyokka, atusuubira okuyigira ku nsobi zaffe n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.
Nsobi ki Yona gye yakola Yakuwa bwe yamutuma?
Kiki Yona kye yasaba Yakuwa, era Yakuwa yaddamu atya okusaba kwe?
Yona yakiraga atya nti yali ayigidde ku nsobi ze?