OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yona
Yakuwa yawandiisa mu Kigambo kye Bayibuli, ebikwata ku basajja n’abakazi abaalina okukkiriza, tusobole okubaako bye tubayigirako. (Bar 15:4) Biki bye wayize mu kitabo kya Yona? Mulabe vidiyo erina omutwe, Okusinza kw’Amaka: Yona—Yigira ku Kisa kya Yakuwa, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Kusoomoozebwa ki ababuulizi abasatu be tulabye mu vidiyo kwe baayolekagana nakwo?
Ebiri mu kitabo kya Yona bituzzaamu bitya amaanyi bwe tuba nga twakangavvulwa oba twaggibwako enkizo mu kibiina? (1Sa 16:7; Yon 3:1, 2)
Ebikwata ku Yona bituyamba bitya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bantu b’omu kitundu kye tubuuliramu? (Yon 4:11; Mat 5:7)
Ebikwata ku Yona bituzzaamu bitya amaanyi bwe tuba nga tulina obulwadde obututawaanya? (Yon 2:1, 2, 7, 9)
Biki by’oyize mu vidiyo eyo ebikwata ku miganyulo egiri mu kusoma Bayibuli n’okufumiitiriza?