OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo nga Wazzeewo Enkyukakyuka
Enkyukakyuka tezeewalika, nnaddala mu nnaku zino ez’enkomerero. (1Ko 7:31) Enkyukakyuka ka tube nga tubadde tuzisuubira oba nga tetuzisuubira, ka zibe nnungi oba mbi, zisobola okutaataaganya enteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo, era ne zikwata ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Biki ebinaatuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era nga tuli banyiikivu, nga wazzeewo enkyukakyuka? Mulabe vidiyo erina omutwe, Okusigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Osenguka, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Magezi ki ow’oluganda omu ge yawa ow’oluganda omulala eyali ateekateeka okusenguka n’ab’omu maka ge?
Omusingi oguli mu Matayo 7:25 gwayamba gutya ab’omu maka ago?
Ab’omu maka ago beetekateeka batya nga bukyali, era ekyo kyabayamba kitya?
Kiki ekyabayamba okumanyiira embeera mu kibiina ekipya, era ne mu kitundu gye baali basengukidde?
Nkyukakyuka ki ezʼamaanyi ezaali zaakabaawo mu bulamu bwange?
Bye njize mu vidiyo biyinza bitya okunnyamba?