Wadde ng’Embaga y’Okuyitako yali tesonga ku Kijjukizo, ebintu ebimu ebyakolebwanga ku mbaga eyo bitukwatako. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yayita Yesu “omwana gwaffe ogw’endiga ogw’Okuyitako.” (1Ko 5:7) Ng’omusaayi gw’omwana gw’endiga ogwasiigibwa ku myango gy’enzigi bwe gwawonyaawo obulamu bw’abantu, n’omusaayi gwa Yesu guwonyaawo obulamu bw’abantu. (Kuv 12:12, 13) Ate era, tewali ggumba na limu ery’omwana gw’endiga ogw’Okuyitako eryamenyebwanga. Mu ngeri y’emu, tewali ggumba lya Yesu na limu eryamenyebwa, wadde ng’ekyo kye kyakolebwanga ku muntu eyabanga awanikiddwa ku muti.—Kuv 12:46; Yok 19:31-33, 36.