LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/15 lup. 17-21
  • ‘Eneebanga Ekijjukizo Gye Muli’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Eneebanga Ekijjukizo Gye Muli’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI ABAISIRAERI BAAKWATANGA EMBAGA EY’OKUYITAKO?
  • EKY’EKIRO KYA MUKAMA WAFFE KYAKWATIBWA KU LUNAKU KI?
  • BYE TUYIGIRA KU MBAGA EY’OKUYITAKO
  • OMUKOLO GWE TUSAANIDDE OKUKWATA
  • Okuyitako n’Ekijjukizo—Bye Bifaanaganya ne Bye Bitafaanaganya
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe—Omukolo Oguweesa Katonda Ekitiibwa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/15 lup. 17-21
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

‘Eneebanga Ekijjukizo Gye Muli’

‘Olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalukuzanga ng’embaga ya Yakuwa.’​—KUV. 12:14.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

  • Kiki Abaisiraeri kye baalina okukola nga beeteekerateekera embaga ey’Okuyitako eyasooka, era kiki kye baalina okukola nga bakwata embaga eyo?

  • Ddi Yesu n’abatume be lwe baasembayo okukwata embaga ey’Okuyitako, era kiki ekyaliwo oluvannyuma ku lunaku olwo?

  • Ebyo ebiri mu Okuva essuula 12 okutuuka ku 15 bituyigiriza ki?

1, 2. Lunaku ki Abakristaayo bonna lwe basaanidde okulowoozaako, era lwaki?

LUNAKU ki lw’ojjukira buli mwaka? Abamu bajjukira olunaku lwe baafumbiriganirwako. Ate abalala bajjukira olunaku eggwanga lyabwe kwe lyafunira obwetwaze. Naye obadde okimanyi nti waliwo olunaku olubadde lujjukirwa buli mwaka okumala emyaka egisukka mu 3,500?

2 Olunaku olwo lwe lunaku lw’embaga ey’Okuyitako. Ku lunaku olw’embaga ey’okuyitako eyasooka, Abaisiraeri kwe baanunulirwa okuva mu buddu e Misiri. Naawe osaanidde okumanya ebikwata ku lunaku olwo. Lwaki? Kubanga olunaku olwo lulina engeri gye lukwata ku bulamu bwo. Naye oyinza okwebuuza, ‘Nze omuntu atali Muyudaaya, olunaku olwo lunkwatako lutya?’ Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kisangibwa mu bigambo bino: “Kristo, okuyitako kwaffe, aweereddwayo.” (1 Kol. 5:7) Okusobola okutegeera obulungi amakulu g’ebigambo ebyo, twetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku mbaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako era n’akakwate akali wakati w’embaga eyo n’ekiragiro ekyaweebwa Abakristaayo bonna.

LWAKI ABAISIRAERI BAAKWATANGA EMBAGA EY’OKUYITAKO?

3, 4. Biki ebyaliwo ng’embaga ey’Okuyitako eyasooka tennabaawo?

3 Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi abatali Bayudaaya bamanyi ebyo ebyaliwo ng’embaga ey’Okuyitako eyasooka tennabaawo. Bayinza okuba nga baabisomako mu Bayibuli mu kitabo ky’Okuva, nga baabibanyumizaako, oba nga baabiraba mu firimu.

4 Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okumala emyaka mingi mu Misiri nga baddu, Yakuwa yasindika Musa ne muganda we Alooni okugamba Falaawo okubata. Falaawo bwe yagaana okuta Abaisiraeri, Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo eby’amaanyi ku Misiri. Mu kibonyoobonyo eky’ekkumi, Katonda yatta abaana ababereberye ab’Abamisiri, ekyo ne kiwaliriza Falaawo okuleka Abaisiraeri okugenda.​—Kuv. 1:11; 3:9, 10; 5:1, 2; 11:1, 5.

5. Bintu ki Abaisiraeri bye baalina okukola nga tebannaba kuteebwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)

5 Bintu ki Abaisiraeri bye baalina okukola nga tebannaba kuteebwa? Mu mwaka gwa 1513 E.E.T., mu mwezi gwa Abibu (Nisaani) ku kalenda y’Ekiyudaaya, Katonda yagamba Abaisiraeri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo, baalina okutandika okweteekerateekera ekyo ekyali kigenda okubaawo nga Nisaani 14 ng’enjuba emaze okugwa.a Lwaki ng’enjuba emaze okugwa? Kubanga olunaku lw’Abayudaaya lwatandikanga ng’enjuba egudde ne luggwaako enkeera ng’enjuba egudde. Ku lunaku lwa Nisaani 14, mu buli maka baalina okutta endiga (oba embuzi) ensajja era ne bamansira ogumu ku musaayi gwayo ku mwango. (Kuv. 12:3-7, 22, 23) Abaisiraeri baalina okulya ennyama y’endiga enjokye, emigaati egitali mizimbulukuse, awamu n’enva ezikaawa. Malayika wa Katonda yali agenda kuyita mu nsi y’e Misiri atte abaana ababereberye ab’omu nsi eyo. Naye abaana ababereberye ab’Abaisiraeri abawulize baali tebagenda kuttibwa. Oluvannyuma abantu ba Katonda baali bagenda kuteebwa.​—Kuv. 12:8-13, 29-32.

6. Lwaki Abaisiraeri baalina okukwata embaga ey’Okuyitako buli mwaka?

6 Abaisiraeri baalinanga okujjukira olunaku Katonda kwe yabanunulira okuva mu buddu e Misiri. Katonda yabagamba nti: ‘Olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalwekuumanga okuba embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga okuba embaga mu tteeka eritaliggwaawo.’ Embaga ey’Okuyitako yabangawo nga Nisaani 14, era yaddirirwanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse eyamalanga ennaku omusanvu. Ennaku ezo omunaana zonna awamu zisobola okuyitibwa Okuyitako. (Kuv. 12:14-17; Luk. 22:1; Yok. 18:28; 19:14) Embaga ey’okuyitako y’emu ku mbaga Abaisiraeri ze baalagirwa okukwata buli mwaka.​—2 Byom. 8:13.

7. Mukolo ki Yesu gwe yatandikawo ku mulundi gwe yasembayo okukwata embaga ey’Okuyitako n’abayigirizwa be?

7 Okuva bwe kiri nti Yesu n’abatume be baali Bayudaaya era nga baalina okukwata Amateeka ga Musa, nabo baakwatanga embaga ey’Okuyitako eyabangawo buli mwaka. (Mat. 26:17-19) Ku mulundi gwe baasembayo okukwata embaga eyo, Yesu yatandikawo omukolo gw’Ekijjukizo abayigirizwa be gwe baalina okukwatanga buli mwaka. Omukolo ogwo era guyitibwa eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Naye omukolo ogwo baalina kugukwatanga ddi?

EKY’EKIRO KYA MUKAMA WAFFE KYAKWATIBWA KU LUNAKU KI?

8. Kibuuzo ki ekikwata ku mbaga ey’Okuyitako n’omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe abamu kye bayinza okuba nga beebuuza?

8 Okuva bwe kiri nti omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe Yesu yagutandikawo oluvannyuma lw’okukwata embaga ey’Okuyitako, omukolo ogwo gulina kukwatibwa ku lunaku lwennyini Abaisiraeri kwe baakwatiranga embaga ey’Okuyitako. Naye oyinza okuba ng’okimanyiiko nti leero Abayudaaya tebakwata mbaga ya kuyitako ku lunaku lwennyini kwe tujjukirira okufa kwa Kristo. Lwaki kiri bwe kityo? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, kikulu okusooka okulowooza ku ekyo Katonda kye yalagira Abaisiraeri okukola. Oluvannyuma lw’okubalagira okutta omwana gw’endiga ku lunaku lwa Nisaani 14, Musa yabategeeza n’ekiseera kye baalina okuguttiramu.​—Soma Okuva 12:5, 6.b

9. Okusinziira ku Okuva 12:6, omwana gw’endiga ogw’Okuyitako gwalinanga kuttibwa ddi? (Laba akasanduuko “Omwana gw’Endiga Gwattibwanga Ddi?”)

9 Okusinziira ku Okuva 12:6 (NW ) omwana gw’endiga gwali gwa kuttibwa ‘kawungeezi.’ Enkyusa za Bayibuli ezimu, nga mw’otwalidde n’enkyusa ya Jewish Tanakh, zikozesa ekigambo “ng’obudde buwungeera” oba “awo ng’enjuba yaakagwa.” N’olwekyo, omwana gw’endiga gwali gwa kuttibwa ng’enjuba yaakagwa naye ng’enzikiza tennakwata, kwe kugamba, ng’olunaku lwa Nisaani 14 lwakatandika.

10. Abantu abamu balowooza nti omwana gw’endiga gwattibwanga ddi, naye ekyo kireetawo kibuuzo ki?

10 Nga wayise emyaka mingi, Abayudaaya abamu baatandika okulowooza nti kyali kyetaagisa essaawa nnyingi okutta endiga zonna ezaaleetebwanga ku yeekaalu. N’olwekyo, baali balowooza nti ekiseera ekyogerwako mu Okuva 12:6 ky’ekyo ng’olunaku lwa Nisaani 14 lunaatera okuggwaako, okuva ku ssaawa mukaaga ez’emisana okutuuka ng’enjuba egudde. Bwe kiba ng’ekyo kye baali balowooza kituufu, kati olwo ekijjulo ky’Okuyitako kyandiriiriddwa ddi? Profesa Jonathan Klawans, omukugu mu by’eddiini y’Ekiyudaaya yagamba nti: ‘Olunaku lutandika ng’enjuba egudde, bwe kityo endiga yasalibwanga ku lunaku olwa 14 naye embaga ey’Okuyitako yatandikanga ku lunaku olwa 15, era ku olwo kwe baaliranga endiga, wadde nga kino tekiragibwa butereevu mu kitabo ky’Okuva.’ Era yagamba nti ‘Ebiwandiiko bya balabbi tebinnyonnyola ngeri embaga ey’Okuyitako gye yakwatibwangamu nga yeekaalu tennazikirizibwa’ mu mwaka gwa 70 E.E.

11. (a) Kiki ekyatuuka ku Yesu ku lunaku lw’embaga ey’Okuyitako mu mwaka gwa 33 E.E.? (b) Lwaki olunaku lwa Nisaani 15 mu mwaka gwa 33 E.E. lwayitibwa Ssabbiiti ‘enkulu’? (Laba obugambo obuli wansi.)

11 Kati ekyebuuzibwa kiri nti, Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 33 E.E. yakwatibwa ddi? Ku lunaku lwa Nisaani 13, ng’olunaku kwe “baaweerangayo ssaddaaka ey’embaga ey’okuyitako” lunaatera okutuuka, Kristo yagamba Peetero ne Yokaana nti: “Mugende mututeekereteekere embaga ey’okuyitako, tugirye.” (Luk. 22:7, 8) “Ekiseera bwe kyatuuka,” Yesu n’abatume be baatuula okulya ekijjulo eky’Okuyitako, oluvannyuma lw’enjuba okugwa ku lunaku lwa Nisaani 14. Olunaku olwo lwali Lwakuna akawungeezi. Bwe baamala okulya ekijjulo ekyo, Yesu yatandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe. (Luk. 22:14, 15) Ku lunaku olwo lwennyini ekiro, Yesu baamukwata era ne bamuwozesa. Enkeera, awo nga ku ssaawa mukaaga, era ng’olunaku lwa Nisaani 14 lukyagenda mu maaso, Yesu yakomererwa ku muti era n’afa ku olwo olweggulo. (Yok. 19:14) Bwe kityo, ‘Kristo, okuyitako kwaffe yaweebwayo’ nga ssaddaaka ku lunaku lwe lumu omwana gw’endiga ogw’Okuyitako kwe gwattirwa. (1 Kol. 5:7; 11:23; Mat. 26:2) Yesu yaziikibwa ng’olunaku lwa Nisaani 15 terunnatandika.c​—Leev. 23:5-7; Luk. 23:54.

BYE TUYIGIRA KU MBAGA EY’OKUYITAKO

12, 13. Okukwata embaga ey’Okuyitako kyaganyulanga kitya abaana b’Abaisiraeri?

12 Ka tuddemu twetegereze ebikwata ku mbaga ey’Okuyitako eyasooka eyali mu Misiri. Musa yagamba nti abantu ba Katonda baalina okukwatanga embaga ey’Okuyitako buli mwaka “emirembe n’emirembe.” Buli mwaka ku mbaga eyo, abaana bandibuuzizzanga bazadde baabwe ensonga lwaki baali bakwata embaga eyo. (Soma Okuva 12:24-27; Ma. 6:20-23) N’olwekyo, okukwata embaga ey’Okuyitako kyandiganyudde n’abaana. Ku mbaga eyo abaana bandiyizenga ebintu bingi.​—Kuv. 12:14.

13 Ku mbaga ey’Okuyitako Abaisiraeri baayigirizanga abaana baabwe ebintu ebikulu ennyo. Ekimu ku bintu ebyo kye ky’okuba nti Yakuwa akuuma abaweereza be. Abaana baabwe baakitegeera nti Yakuwa wa ddala era nti afaayo nnyo ku bantu be. Ekyo kyeyoleka bulungi bwe yaleeta ekibonyoobonyo eky’ekkumi ku Bamisiri naye n’awonyawo ababereberye b’Abaisiraeri.

14. Kintu ki ekikwata ku mbaga ey’Okuyitako abazadde Abakristaayo kye basaanidde okuyigiriza abaana baabwe?

14 Kyo kituufu nti tewali tteeka liragira bazadde Bakristaayo kubuulira baana baabwe bikwata ku mbaga ey’Okuyitako buli mwaka. Wadde kiri kityo, abazadde mufuba okuyigiriza abaana bammwe ekintu ekikulu Abaisiraeri kye baayigiranga ku mbaga ey’Okuyitako​—nti Katonda akuuma abantu be? Abaana bammwe bakiraba nti ddala mukikkiriza nti ne leero Katonda akuuma abantu be? (Zab. 27:11; Is. 12:2) Ekyo mufuba okukiyigiriza abaana bammwe nga munyumyako nabo? Bwe munaakola bwe mutyo, mujja kuyamba abaana bammwe okwongera okwesiga Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Bintu ki ebikwata ku mbaga ey’Okuyitako by’oyinza okuyigiriza abaana bo? (Laba akatundu 14)

15, 16. Ebyo ebiri mu Okuva essuula 12 okutuuka ku 15 bituyigiriza ki ku Yakuwa?

15 Ekintu ekirala kye tuyigira ku mbaga ey’Okuyitako kiri nti Yakuwa anunula abantu be. Lowooza ku ngeri gye yanunulamu Abaisiraeri okuva e Misiri. Yabakulembera ng’akozesa empagi ey’ekire n’empagi ey’omuliro. Abaisiraeri baatambulira wakati mu Nnyanja Emmyufu ku ttaka ekkalu ng’amazzi gakoze ekisenge ku mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono. Bwe baamala okuyita mu nnyanja eyo, baalaba ng’amazzi gasaanyaawo eggye ly’Abamisiri. Abaisiraeri baatendereza Yakuwa olw’okubanunula nga bagamba nti: “Ndimuyimbira Mukama . . . Embalaasi n’omwebagazi waayo yabisudde mu [nnyanja]. Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, anfuukidde obulokozi bwange.”​—Kuv. 13:14, 21, 22; 15:1, 2; Zab. 136:11-15.

16 Bw’oba olina abaana, ofuba okubayamba okukiraba nti Yakuwa ye Katonda ow’amaanyi asobola okununula abantu be? Ekyo bakirabira mu ebyo by’oyogera ne mu ebyo by’osalawo mu bulamu bwo? Mu kusinza kwammwe okw’amaka, musobola okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Okuva essuula 12 okutuuka ku 15, era n’obalaga engeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be. Ku mulundi omulala muyinza okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 7:30-36 oba mu Danyeri 3:16-18, 26-28. Mu butuufu, ffenna abakulu n’abato, tusaanidde okuba abakakafu nti nga Yakuwa bwe yanunula abantu be mu kiseera kya Musa, ajja kununula abantu be ne mu kiseera eky’omu maaso.​—Soma 1 Abassessalonika 1:9, 10.

OMUKOLO GWE TUSAANIDDE OKUKWATA

17, 18. Lwaki omusaayi gwa Kristo gwa muwendo nnyo okusinga omusaayi gw’omwana gw’endiga ogwaweebwayo ku mbaga ey’Okuyitako eyasooka?

17 Kyo kituufu nti Abakristaayo ab’amazima tebakwata mbaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako. Amateeka ga Musa gaali galagira Abayudaaya okukwata embaga ey’Okuyitako, naye ffe tetuli wansi w’Amateeka ago. (Bar. 10:4; Bak. 2:13-16) Kyokka, waliwo omukolo omulala gwe tukwata, nga guno gwe mukolo ogw’okujjukira okufa kw’Omwana wa Katonda. Wadde nga tetukwata mbaga ya Kuyitako, waliwo ebintu bingi bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ku mbaga ey’Okuyitako eyasooka.

18 Omusaayi gw’omwana gw’endiga Abaisiraeri gwe baamansira ku myango gy’enzigi zaabwe gwayamba abaana baabwe ababereberye obutattibwa. Leero tetuwaayo ssaddaaka za nsolo eri Katonda ku lunaku lw’embaga ey’Okuyitako oba ku lunaku olulala lwonna. Naye waliwo ssaddaaka eyaweebwayo esobola okutulokola emirembe gyonna. Ng’ayogera ku ssaddaaka eyo, omutume Pawulo yakiraga nti ‘omusaayi gwa Yesu ogwamansirwa’ gusobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu. Abaafukibwako amafuta abo bayitibwa “ekibiina ky’ababereberye abawandiikiddwa mu ggulu.” (Beb. 12:23, 24) Omusaayi gwa Yesu era gusobozesa ab’endiga endala okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Ffenna tusaanidde okulowoozanga ku bigambo bino: “Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.”​—Bef. 1:7.

19. Ebyo ebyaliwo nga Yesu ali ku muti ogw’okubonaabona bituyamba bitya okuba abakakafu nti n’obunnabbi obulala bwonna obuli mu Bayibuli bujja kutuukirira?

19 Omwana gw’endiga Abaisiraeri gwe baalina okulya ku mbaga ey’Okuyitako, tebaalina kumenya ggumba lyagwo lyonna. (Kuv. 12:46; Kubal. 9:11, 12) Ate ye Yesu, “Omwana gw’Endiga owa Katonda” eyawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo, amagumba ge gaamenyebwa? (Yok. 1:29) Yesu yakomererwa wamu n’abamenyi b’amateeka babiri. Abayudaaya baasaba Piraato abakkirize bamenye amagumba ga Yesu n’ag’abamenyi ba mateeka ababiri. Ekyo kyandibaleetedde okufa amangu, bwe kityo ne basobola okuggibwa ku miti egy’okubonaabona ng’olunaku lwa Nisaani 15 terunnatandika, okuva bwe kiri nti olunaku olwo yali Ssabbiiti nkulu. Abasirikale baamenya amagulu g’abamenyi b’amateeka ababiri, naye ‘bwe baatuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, tebamenya magulu ge.’ (Yok. 19:31-34) Ng’amagumba g’omwana gw’endiga ogw’Okuyitako bwe gataamenyebwa, amagumba ga Yesu nago tegaamenyebwa. Bwe kityo, omwana gw’endiga ogwo gwali ‘kisiikirize’ ky’ebyo ebyali bigenda okujja ku Nisaani 14, mu mwaka gwa 33 E.E. (Beb. 10:1) Ekyo kyatuukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 34:20, era kituleetera okuba abakakafu nti n’obunnabbi obulala bwonna obuli mu Bayibuli bujja kutuukirira.

20. Njawulo ki eri wakati w’engeri Abayudaaya gye baakwatangamu embaga ey’Okuyitako n’engeri abagoberezi ba Yesu gye balina okukwatamu eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

20 Kyokka waliwo enjawulo wakati w’engeri Abayudaaya gye baakwatangamu embaga ey’Okuyitako n’engeri abagoberezi ba Yesu gye balina okukwatamu eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Ng’ekyokulabirako, ku mbaga ey’Okuyitako Abaisiraeri baalina okulya ennyama y’omwana gw’endiga naye tebaalina kunywa musaayi gwayo. Ekyo kyali kyawukana n’ekyo Kristo kye yalagira abagoberezi be okukola nga bajjukira okufa kwe. Yesu yagamba nti abo abandifugidde awamu naye “mu bwakabaka bwa Katonda” baali ba kulya ku mugaati n’okunywa ku nviinyo, nga bino bikiikirira omubiri gwe n’omusaayi gwe. Mu kitundu ekiddako, tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Mukama waffe.​—Mak. 14:22-25.

21. Lwaki tulina okumanya ebikwata ku mbaga ey’Okuyitako?

21 Embaga ey’Okuyitako gwali mukolo mukulu nnyo mu byafaayo by’Abaisiraeri, era buli omu ku ffe alina ky’asobola okuguyigirako. N’olwekyo, wadde ng’embaga ey’Okuyitako yali ya kukwatibwanga Bayudaaya, Abakristaayo tusaanidde okumanya ebikwata ku mbaga eyo era ne tubaako bye tugiyigirako, kubanga “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.”​—2 Tim. 3:16.

a Omwezi ogusooka ku kalenda y’Ekiyudaaya gwatandika okuyitibwa Nisaani oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwambe e Babulooni. Mu kitundu kino tugenda kuguyita Nisaani.

b Okuva 12:5, 6 (NW ): “Ensolo eyo erina okuba nga nnamu bulungi, nga nnume, era nga ya mwaka gumu. Muyinza okugiggya mu ndiga ento ensajja oba embuzi. Mugirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno, era ekibiina kyonna ekya Isirayiri kirigitta akawungeezi ng’obudde tebunnaziba.”

c Embaga ey’Okuyitako bwe yaggwanga, olunaku olwaddangako (Nisaani 15) lwe lwabanga olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Olunaku olusooka olw’embaga eyo, yabanga ssabbiiti. Mu mwaka gwa 33 E.E., olunaku olwa Nisani 15 lwagwa ku lunaku lwa Ssabbiiti eya buli wiiki (Olwomukaaga). Olw’okuba Ssabbiiti ezo zombi zaaliwo ku lunaku lwe lumu, olunaku olwo lwayitibwa Ssabbiiti ‘enkulu.’​—Soma Yokaana 19:31, 42.

OMWANA GW’ENDIGA GWATTIBWANGA DDI?

Abantu abamu abanoonyereza ku Byafaayo by’Abayudaaya, bagamba nti Abaisiraeri baalinanga okutta omwana gw’endiga akawungeezi. Okusinziira ku ngeri Abaisiraeri gye baabalangamu ebiseera, akawungeezi ako kaatandikanga ng’enjuba yaakagwa ne kaggwaako ng’enzikiza etandise okukwata, era ekiseera ekyo kyamalanga essaawa ng’emu n’eddakiika amakumi abiri. Ekyo kikwatagana bulungi n’ekiragiro ekyaweebwa Abaisiraeri ekisangibwa mu Ekyamateeka 16:6 (NW ), awagamba nti: “Ssaddaaka y’embaga ey’okuyitako onoogiwangayo akawungeezi ng’enjuba yaakagwa, mu kiseera kye waviiramu e Misiri.”​—Kuv. 30:8; Kubal. 9:3-5, 11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share