EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 3-4
Okuwonya ku Ssabbiiti
Lwaki endowooza Abafalisaayo gye baalina yanakuwaza Yesu? Etteeka lya Ssabbiiti baali balyongeddemu obuteekateeka ne bagifuula nzibu nnyo okukwata. Ng’ekyokulabirako, okutta enkukunyi ku Ssabbiiti kyali tekikkirizibwa. Ate era kyali tekikkirizibwa kuwonya ku Ssabbiiti, okuggyako obulamu bwe bwabanga mu kabi. Ekyo kyali kitegeeza nti okuyunga eggumba erimenyese kyali tekikkirizibwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Abafalisaayo tebaalumirirwa musajja eyalina omukono ogwasannyalala.