ESSUULA 31
Banoga Eŋŋaano ku Ssabbiiti
MATAYO 12:1-8 MAKKO 2:23-28 LUKKA 6:1-5
ABAYIGIRIZWA BANOGA EŊŊAANO KU SSABBIITI
YESU YE “MUKAMA WA SSABBIITI”
Yesu n’abayigirizwa boolekera Ggaliraaya ekiri mu bukiikakkono. Mu kiseera kino eky’omwaka, eŋŋaano eba etaddeko ebirimba. Olw’okuba abayigirizwa ba Yesu enjala ebaluma, banoga ebimu ku birimba by’eŋŋaano ne batandika okulya. Naye ekyo bakikoze ku Ssabbiiti era Abafalisaayo babalaba.
Jjukira nti emabegako nga Yesu ali mu Yerusaalemi, Abayudaaya baali baagala kumutta nga bamuvunaana okumenya etteeka lya Ssabbiiti. Kati batandika okumunenya nga basinziira ku ekyo abayigirizwa be kye bakoze. Bamugamba nti: “Laba! Abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”—Matayo 12:2.
Abafalisaayo bagamba nti okunoga ebirimba by’eŋŋaano n’okubikunya mu bibatu basobole okubirya kuba kukungula na kuwuula. (Okuva 34:21) Bafuula Ssabbiiti omugugu olw’engeri gye bannyonnyolamu ebyo ebitalina kukolebwa ku Ssabbiiti, kyokka nga lulina kuba lunaku lwa ssanyu abantu kwe bayigira ebikwata ku Yakuwa Katonda. Yesu abalaga nti endowooza yaabwe nkyamu ng’abawa ebyokulabirako ebiraga endowooza Yakuwa Katonda gy’alina ku Ssabbiiti.
Ekyokulabirako ekisooka Yesu ky’abawa ky’ekyo ekikwata ku Dawudi n’abasajja be. Enjala bwe yali ebaluma, baagenda ku weema ya Katonda ne balya emigaati egy’okulaga. Emigaati egyo egyaggibwanga mu maaso ga Yakuwa ne wateekebwawo emiggya, gyaliibwanga bakabona bokka. Naye Yakuwa teyanenya Dawudi n’abasajja be olw’okulya emigaati egyo.—Eby’Abaleevi 24:5-9; 1 Samwiri 21:1-6.
Mu kyokulabirako eky’okubiri, Yesu abagamba nti: “Temusomangako mu Mateeka nti bakabona mu yeekaalu bakola emirimu ku Ssabbiiti ne batabaako musango?” Ky’ategeeza nti ne ku Ssabbiiti, bakabona batta ensolo ez’okuwaayo era bakola emirimu emirala mu yeekaalu. Agattako nti: “Oyo asinga yeekaalu ali wano.”—Matayo 12:5, 6; Okubala 28:9.
Yesu aggumiza ensonga eyo ng’akozesa Ebyawandiikibwa. Abagamba nti: “Singa mwali mutegedde amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi so si ssaddaaka,’ temwandinenyezza batalina musango.” Agattako nti: “Kubanga Omwana w’omuntu ye Mukama wa ssabbiiti.” Yesu ayogera ku kiseera eky’emyaka olukumi lwe walibaawo emirembe ng’afuga nga Kabaka.—Matayo 12:7, 8; Koseya 6:6.
Abantu bamaze ebbanga ddene nga babonaabona olw’entalo n’obumenyi bw’amateeka ebitumbulwa Sitaani. Ebiriwo leero byawukanira ddala ku ebyo ebiribeerawo ku Ssabbiiti enkulu ey’obufuzi bwa Kristo. Kristo ajja kuleeta emirembe gye twesunga era gye twetaaga!