EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 11-12
Ataddemu Kingi Okusinga Abalala Bonna
Bye tuyigira ku nnamwandu eyawaayo obusente obutono:
- Yakuwa asiima nnyo ebyo bye tukola 
- Weereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna 
- Kola ky’osobola; teweegeraageranya na balala era togeraageranya ebyo by’osobola kukola kati, n’ebyo bye wakolanga edda 
- Abaavu nabo basobola okugaba, wadde nga balina bitono 
Biki ebirala by’oyigira ku nnamwandu?