OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Obusente Bubiri” obw’Omuwendo Ennyo mu Maaso ga Yakuwa
Ssente nnamwandu ze yawaayo zaali tezimala wadde okugula emmere ey’olulya olumu. (Laba “byonna bye yali nabyo” awannyonnyolerwa ebiri mu Lukka 21:4, nwtsty.) Wadde kyali kityo, okuwaayo ssente ezo kyalaga nti yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima. Eyo ye nsonga lwaki ssente ezo zaali za muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa.—Mak 12:43.
MULABE VIDIYO, ‘OKUBAAKO KYE TUWA YAKUWA,’ OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Ssente ze tuwaayo zikozesebwa zitya? 
- Lwaki ssente ze tuwaayo, ka zibe nga ntono, za muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa? 
- Tuyinza tutya okumanya engeri ez’enjawulo ze tuyinza okukozesa okuwaayo mu kitundu kyaffe?—Laba akasanduuko “Manya Ebisingawoku Mukutu Gwaffe”