EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 17-18
Kirage nti Osiima
Kiki kye tuyigira ku bagenge Yesu be yawonya?
Tetusaanidde kukoma ku kuwulira buwulizi nti tusiimye kye batukoledde, naye era tusaanidde n’okukiraga mu bikolwa
Okusiima abalala mu bwesimbu, kiraga nti tulina okwagala era nti tulina empisa ennungi
Abo abaagala okusanyusa Kristo balina okwagala abantu bonna, ka babe ba ggwanga ki oba ba ddiini ki