EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 5-6
Goberera Yesu ng’Olina Ekigendererwa Ekirungi
Yesu bwe yawa ekyokulabirako ekyazibuwalira abayigirizwa be okutegeera, abamu beesittala ne balekera awo okumugoberera. Olunaku lumu emabega, Yesu yali aliisizza abantu mu ngeri ey’ekyamagero, era baakakasa nti amaanyi ge yakozesa gaava eri Katonda. Kati olwo lwaki beesittala? Kirabika baali bagoberera Yesu nga balina ekigendererwa ekikyamu. Baali bamugoberera lwa kubaako bye beefunira.
Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Lwaki ngoberera Yesu? Mmugoberera lwa mikisa gye nfuna kati era ne bye nsuubira okufuna mu biseera eby’omu maaso? Oba lwa kuba njagala Yakuwa era njagala okumusanyusa?’
Lwaki tuyinza okwesittala bwe tuba nga tuweereza Yakuwa olw’ensonga zino zokka?
Tunyumirwa okubeera awamu n’abantu ba Katonda
Twagala okufuna obulamu obutaggwaawo