OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okukolera Awamu Okusobola Okubuulira mu Kitundu Omuli Abantu Aboogera Ennimi Endala
Abantu bakkiriza mangu obubaka bw’obwakabaka nga babuwulira mu lulimi lwabwe. Oboolyawo ye nsonga lwaki ku Pentekooti 33 E.E., Yakuwa yakola enteekateeka “Abayudaaya abatya Katonda abaali bavudde mu mawanga gonna agali wansi w’eggulu” okuwulira amawulire amalungi ‘mu lulimi lwabwe olw’obuzaaliranwa,’ wadde nga bayinza okuba nga baali basobola okwogera olulimi olwali lusinga okukozesebwa, gamba ng’Olwebbulaniya oba Oluyonaani. (Bik 2:5, 8) Leero, ebibiina ebiba n’enkuŋŋaana mu nnimi ez’enjawulo bisobola okuba n’ebitundu eby’okubuuliramu ebiriraaniganye. Ababuulizi mu bibiina ng’ebyo bayinza batya okukolera awamu okusobola okubuulira buli muntu mu kitundu kyabwe mu ngeri entegeke obulungi?
Muyambagane (Nge 15:22): Abalabirizi b’obuweereza basaanidde okukolera awamu basobole okulaba engeri ebibiina byabwe gye binaabuuliramu obulungi. Ebibiina ebikozesa ennimi endala bwe biba n’ekitundu eky’okubuuliramu ekitono, biyinza okwagala mubuuke amayumba omuli abantu aboogera ennimi ze bakozesa. Kyokka, bwe baba nga tebasobola kumalako kitundu kyabwe olw’okuba kinene, bayinza okwagala mubuulire amayumba gonna naye nga mubategeeza omuntu yenna gwe muba musanze ayogera olulimi lwabwe ayagala okumanya ebisingawo. (od lup. 93 ¶37) Oba bayinza okubasaba mubayambeko okuzuula abantu aboogera olulimi lwe bakozesa mu kibiina kyabwe naye nga bali mu kitundu kye mubuuliramu. (km 7/12 lup. 5, akasanduuko) Mukijjukire nti oluusi mu maka muyinza okubeeramu abantu aboogera ennimi ez’enjawulo. Musaanidde okugoberera amateeka agakwata ku ngeri y’okukozesaamu ebintu ebikwata ku bantu abalala.
Mukolere wamu (Bef 4:16): Mugoberere obulagirizi bwonna obuba bubaweereddwa omulabirizi w’obuweereza. Olina omuyizi wa Bayibuli naye ng’olulimi lw’asinga okutegeera si lwe lukozesebwa mu kibiina kyammwe? Omuyizi oyo ayinza okukulaakulana amangu singa omuwa omubuulizi ali mu kibiina oba ekibinja ekikozesa olulimi olwo.
Mubeere beetegefu (Nge 15:28; 16:1): Bw’oba obuulira mu kitundu kyo n’osanga omuntu ayogera olulimi olulala, kola kyonna ekisoboka okumubuulira amawulire amalungi. Osobola okweteekateeka ng’olowooza ku bantu aboogera ennimi endala b’onoosanga ng’obuulira, era n’owanula enkyusa za Bayibuli ne vidiyo eziri mu nnimi ezo ku ssimu yo. Osobola okukozesa programu ya JW Language okuyiga okubuuza mu nnimi ezimu.