LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Jjanwali lup. 13
  • Tutegekeddwa Okubuulira Buli Muntu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tutegekeddwa Okubuulira Buli Muntu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Omuntu Ayogera Olulimi lw’Otomanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Okweyongera Okubuulira Abantu Aboogera Olulimi Olugwira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuuka ku Buli Muntu mu Kitundu Kye Tubuuliramu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Okukolera Awamu Okusobola Okubuulira mu Kitundu Omuli Abantu Aboogera Ennimi Endala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Jjanwali lup. 13
Ow’oluganda akozesa programu ya ‘JW Language’ eri ku tabbuleeti ye.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tutegekeddwa Okubuulira Buli Muntu

Nga Yakuwa bwe yategeka Abayisirayiri, ne leero ategeka abantu be okukola by’ayagala. Okwetooloola ensi, ofiisi z’amatabi, ebitundu, ebibiina, n’ebibinja by’obuweereza, byonna bikolera wamu okusobola okutuukiriza omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Tubuulira buli omu, nga mw’otwalidde n’abo aboogera olulimi olw’enjawulo ku lwaffe.​—Kub 14:6, 7.

Wali olowoozezzaako ku ky’okuyiga olulimi olulala osobole okuyamba abalala okuyiga amazima? Ne bw’oba nga tolina budde bumala kuyiga lulimi lulala, osobola okukozesa programu ya JW Language okuyigayo ennyanjula ennyangu mu lulimi olulala. Bw’okozesa ennyanjula eyo mu buweereza, osobola okufuna essanyu Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka lye baafuna bwe baabuulira abantu “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo” mu nnimi zaabwe.​—Bik 2:7-11.

MULABE VIDIYO, BEERA MUKWANO GWA YAKUWA​—BUULIRA MU LULIMI OLULALA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Beera Mukwano gwa Yakuwa​—Buulira mu Lulimi Olulala.’ Kalebu akuba akafaananyi nga loboti emuyambako okubuulira omukazi ayogera olulimi olulala.

    Ddi lw’oyinza okukozesa programu ya JW Language?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Beera Mukwano gwa Yakuwa​—Buulira mu Lulimi Olulala.’ Awabeera okulamusa n’ennyanjula ku programu ya ‘JW Language.’

    Bintu ki ebiriko?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Beera Mukwano gwa Yakuwa​—Buulira mu Lulimi Olulala.’ Omukazi y’omu asanyuka nga Kalebu ne Sofiya bamubuuzizza mu Lukyayina.

    Abantu ab’amawanga gonna beetaaga okuwulira amawulire amalungi

    Nnimi ki abantu ze boogera mu kitundu kyammwe?

  • Kiki kye tusaanidde okukola singa omuntu asiimye obubaka bwaffe ayogera lulimi lulala?​—od lup. 100-101 ¶39-41

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share