EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 ABAKKOLINSO 1-3
Yakuwa Ye “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
Ekimu ku bintu Yakuwa by’akozesa okutubudaabuda kye kibiina Ekikristaayo. Tuyinza tutya okubudaabuda abo abali mu nnaku?
Bwe baba boogera, bawulirize bulungi era tobasala kirimi
‘Kaabira wamu n’abo abakaaba.’—Bar 12:15
Baweereze kaadi, e-mail, oba mesegi ezzaamu amaanyi.—w17.07 lup. 15, akasanduuko
Sabira wamu nabo era basabire