LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Jjuuni lup. 2
  • ‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Yali Yayogera Dda ku Ndagaano Empya
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Jjuuni lup. 2
Agali ne Saala—emabega waabwe ssaddaaka ziweebwayo ku yeekaalu; abayigirizwa babuulira; abayigirizwa bawuliriza ng’omuzingo gusomebwa

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABAGGALATIYA 4-6

‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli

4:24-31

Omutume Pawulo yayogera ku ‘bintu eby’akabonero’ okulaga engeri endagaano empya gye yali esingamu endagaano y’Amateeka. Yesu n’abo b’anaafuga nabo bajja kusumulula abantu okuva mu kibi n’okufa, era babayambe okufuuka abatuukiridde.​—Is 25:8, 9.

AGALI​—OMUZAANA

Akiikirira eggwanga lya Isirayiri eryali wansi w’endagaano y’Amateeka, era Yerusaalemi kye kyali ekibuga ky’eggwanga eryo ekikulu

SAALA​—OMUKAZI OW’EDDEMBE

Akiikirira Yerusaalemi ekya waggulu, nga kye kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda

“ABAANA” BA AGALI

Bakiikirira Abayisirayiri (abeeyama okukwata endagaano y’Amateeka), naye baagaana Yesu era ne bamuyigganya

“ABAANA” BA SAALA

Bakiikirira Kristo n’Abakristaayo 144,000 abaafukibwako amafuta

OKUBEERA MU BUDDU BW’ENDAGAANO Y’AMATEEKA

Amateeka gajjukizanga Abayisirayiri nti baali baddu ba kibi

ENDAGAANO EMPYA EREETA EMIREMBE

Abantu bwe bakkiririza mu kinunulo kya Kristo, basumululwa okuva mu kibi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share