LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Jjuuni lup. 7
  • Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa ng’Olonda eby’Okwesanyusaamu
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Engeri Gye Tuyinza Okulondamu eby’Okwesanyusaamu
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Okulondawo eby’Okwesanyusaamu Ebirungi
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Weemalire ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Jjuuni lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Londa n’Amagezi eby’Okwesanyusaamu

Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulonda eby’okwesanyusaamu? Kubanga ebyo bye tulaba mu firimu, bye tuwuliriza mu nnyimba, bye tulaba ku mikutu gya Intaneeti, bye tusoma mu bitabo, oba emizannyo gya kompyuta gye tuzannya, bisigala mu birowoozo byaffe. Ebyo bye tulondawo birina kye bikola ku nneeyisa yaffe. Eky’ennaku, eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi ebiriwo leero birimu ebintu Yakuwa by’akyawa. (Zb 11:5; Bag 5:19-21) N’olw’ensonga eyo, Bayibuli etukubiriza okulowoozanga ku bintu ebiweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Baf 4:8.

MULABE VIDIYO, BYA KWESANYUSAAMU KI BYE MBA NNONDAWO? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Omuzannyo gw’Abaruumi

    Emizannyo gy’Abaruumi egy’edda gifaananako gitya eby’okwesanyusaamu ebimu ebiriwo leero?

  • Ow’oluganda aweereza nga payoniya akola n’ow’oluganda omuvubuka mu buweereza

    Tuyinza tutya okuyamba abato mu kibiina okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi?

  • Omusirikale

    Ebiri mu Abaruumi 12:9 biyinza bitya okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

  • Abajulirwa wa Yakuwa abavubuka bazannya omupiira

    Byakwesanyusaamu ki ebisaana ebiri mu kitundu kyammwe?

EBY’OKWESANYUSAAMU BYE WEENYIGIRAMU OBUTEREEVU OBA BY’OTEENYIGIRAMU BUTEREEVU

Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero tebiba bya kwenyigiramu butereevu. By’olaba mu firimu, ku ttivi, ne by’osoma mu bitabo, abalala be baba babyenyigiddemu so si gwe. Wadde nga si kikyamu kunyumirwa byakwesanyusaamu ng’ebyo, bangi bakizudde nti eby’okwesanyusaamu bye beenyigiddemu obutereevu bye bisinga okuba eby’omuganyulo. Ng’ekyokulabirako, abamu banyumirwa okukuba ebivuga oba okusiiga ebifaananyi. Ate abalala banyumirwa okuzannya emizannyo egitali gimu gamba ng’okubaka oba okusamba akapiira. Ka bibe byakwesanyusaamu bya ngeri ki bye tuba tulonzeewo, ka ‘tukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’​—1Ko 10:31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share