EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 ABASSESSALONIKA 1-3
Okulabika kw’Omujeemu
Pawulo yali ayogera ku ki mu nnyiriri zino?
“Ekiziyiza” (olunyiriri 6)—Bayinza okuba nga be batume
“Okulabika” (olunyiriri 6)—Abatume bwe baamala okufa, Abakristaayo bakyewaggula baatandika okuyigiriza enjigiriza ez’obulimba mu lujjudde
“Obujeemu buno obuli mu kyama” (olunyiriri 7)—Mu kiseera kya Pawulo, “omujeemu” yali tamanyiddwa
“Omujeemu” (olunyiriri 8)—Leero be bakulembeze b’amadiini ageeyita ag’Ekikristaayo okutwalira awamu
‘Mukama waffe Yesu alitta omujeemu oyo era alimuzikiriza n’okulabisibwa kw’okubeerawo kwe’ (olunyiriri 8)—Yesu ajja kukyoleka nti ye Kabaka mu ggulu ng’assa mu nkola omusango Yakuwa gwe yasalira enteekateeka ya Sitaani nga mw’otwalidde ‘n’omujeemu’
Ennyiriri ezo zikukubiriza zitya okweyongera okubuulira n’obunyiikivu?