OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kiki ky’Onookola mu Kiseera eky’Ekyeya?
Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’okukkiririza mu Yakuwa n’okumwesiga. Ng’ekyokulabirako, okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa kituyamba okumwesiga nti ajja kutukuuma era atulabirire. (Zb 23:1, 4; 78:22) Nga tusemberera enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tusuubira nti Sitaani ajja kweyongera okutulumba. (Kub 12:12) Tunaasobola tutya okumulwanyisa?
MULABE VIDIYO, KIKI KY’ONOOKOLA MU KISEERA EKY’EKYEYA? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Tufaananako tutya “omuti” ogwogerwako mu Yeremiya 17:8?
Ekimu ku bintu ebiringa “omusana” kye kiruwa?
Kiki ekitatuuka ku ‘muti’ ogwo era lwaki?
Kiki Sitaani ky’ayagala tukole?
Mu ngeri ki gye tuli ng’omuntu atera okutambulira mu nnyonyi?
Lwaki tusaanidde okweyongera okwesiga omuddu omwesigwa era ow’amagezi, era obwesige bwaffe bujja kugezesebwa butya?
Lwaki tusaanidde okweyongera okugoberera emisingi gya Bayibuli wadde ng’abantu b’ensi batuvumirira?