OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
‘Ebintu Bino Mweyongere Okubirowoozaako’
Bintu ki? Abafiripi 4:8 watugamba okulowooza ku bintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa. Ekyo tekitegeeza nti Omukristaayo alina kulowooza ku Byawandiikibwa buli kiseera. Kyokka, ebintu bye tulowoozaako bisaanidde okuba nga bisanyusa Yakuwa. Tetusaanidde kulowooza ku bintu ebiyinza okutuleetera obutaba beesigwa eri Yakuwa.—Zb 19:14.
Kiyinza obutaba kyangu kwewala kulowooza ku bintu bibi. Tulina okufuba okulwanyisa okwegomba okubi awamu ne Sitaani, “katonda w’ensi eno.” (2Ko 4:4) Olw’okuba Sitaani akozesa emikutu gy’empuliziganya okutumbula endowooza ye, ebintu ebisinga ebibeera ku TV, leediyo, Intaneeti, n’ebitabo eby’okusoma, bibi. Tusaanidde okulonda obulungi ebintu bye tussa mu birowoozo byaffe, kubanga ebintu bye tulowoozaako birina kye bikola ku ndowooza yaffe n’enneeyisa yaffe.—Yak 1:14, 15.
MULABE VIDIYO, WEEWALE EBIYINZA OKUKUVIIRAKO OBUTABA MWESIGWA—EBY’OKWESANYUSAAMU EBITASAANA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Bintu ki ow’oluganda bye yali alaba ku ssimu ye, era byamukolako ki?
Ebiri mu Abaggalatiya 6:7, 8 ne mu Zabbuli 119:37 byamuyamba bitya?