EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBIKKULIRWA 7-9
Yakuwa Awa Emikisa Ekibiina Ekinene Ekitamanyiddwa Muwendo
Lwaki Yakuwa awa emikisa ekibiina ekinene?
‘Bayimiridde mu maaso g’entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka,’ ekiraga nti bawagira obufuzi bwe
Bambadde “ebyambalo ebyeru,” ekiraga nti balina enkolagana ennungi ne Yakuwa olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Kristo
‘Baweereza Yakuwa emisana n’ekiro,’ ekiraga nti bafuba okumusinza bulijjo
Kiki kye nnina okukola okusobola okubeera mu kibiina ekinene?