OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ensi ‘Yamira Omugga’
Okuva edda n’edda, emirundi egimu ab’obuyinza babaddenga bayamba abantu ba Yakuwa. (Ezr 6:1-12; Es 8:10-13) Ne leero, “ensi,” nga be b’obuyinza abalina endowooza ennuŋŋamu, emize “omugga,” nga kwe kuyigganyizibwa okuva eri “ogusota,” Sitaani Omulyolyomi. (Kub 12:16) Yakuwa “Katonda atulokola,” emirundi mingi aleetera abafuzi b’ensi okuyamba abantu be.—Zb 68:20; Nge 21:1.
Watya singa osibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwo? Tolowooza nti Yakuwa takufaako. (Lub 39: 21-23; Zb 105:17-20) Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa olw’okukkiriza kw’oyoleka era nti obwesigwa bwo buzzaamu baganda bo abali mu nsi yonna amaanyi.—Baf 1:12-14; Kub 2:10.
MULABE VIDIYO, AB’OLUGANDA MU KOREA BASUMULUDDWA OKUVA MU KKOMERA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki baganda baffe nkumi na nkumi mu South Korea babaddenga basibibwa mu kkomera?
Kkooti yasalawo ki ekyaleetera baganda baffe abamu okusumululwa mu kkomera ng’ekiseera kye baabasalira tekinnaggwako?
Tuyinza tutya okuyamba baganda baffe mu nsi yonna abasibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe?
Eddembe lye tulina kati tuyinza kulikozesa tutya?
Ani gwe tulina okutendereza olw’obuwanguzi bwe tutuuseeko mu kkooti?
Eddembe lye nnina ndikozesa ntya?