EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 20-21
Bulijjo Yakuwa Atuukiriza by’Asuubiza
Yakuwa yawa Ibulayimu ne Saala omwana olw’okukkiriza kwe baalina. Bwe baasigala nga beesigwa mu kugezesebwa, kyalaga okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina mu bisuubizo bya Yakuwa.
Okusigala nga ndi mwesigwa mu kugezesebwa kiraga kitya nti nzikiririza mu bisuubizo bya Yakuwa? Nnyinza ntya okunyweza okukkiriza kwange?