EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 6-7
“Kaakano Ojja Kulaba Kye Nnaakola Falaawo”
Yakuwa bwe yali tannaba kuleeta bibonyoobonyo ku Bamisiri era n’okununula Abayisirayiri okuva mu buddu, yasooka kubuulira Abayisirayiri kye yali agenda okukola. Yakuwa yali agenda kwoleka amaanyi ge mu ngeri gye baali batalabangako era Abamisiri baali bagenda kumanya ekyo Yakuwa ky’ali. Ebisuubizo bya Katonda bwe byatuukirira, okukkiriza kw’Abayisirayiri kweyongera okunywera era ekyo kyabayamba okulekayo enjigiriza enkyamu ze baali baayiga e Misiri.
Ebyo ebikwata ku kununulibwa kw’Abayisirayiri okuva mu buddu bikukakasa bitya nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirira?