EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 32-33
Okola Kyonna Ekisoboka Okufuna Omukisa?
Okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa, tulina okufuba okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. (1Ko 9:26, 27) Mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tusaanidde okuba n’endowooza y’emu nga Yakobo gye yalina ng’ameggana ne malayika. Tukiraga nti tufuba okufuna emikisa gya Yakuwa nga . . .
Tweteekerateekera bulungi enkuŋŋaana
Twenyigira mu buweereza obutayosa
Tufuba okuyamba abalala mu kibiina
K’obe ng’oli mu mbeera enzibu, bulijjo saba Yakuwa akuyambe era awe obuweereza bwo emikisa.
WEEBUUZE, ‘Wa we nnyinza okwongeramu amaanyi nsobole okufuna emikisa gya Yakuwa?’