LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Apuli lup. 8
  • Kiki Ekisinga Obukulu mu Bulamu Bwange?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekisinga Obukulu mu Bulamu Bwange?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Kiki Ekyandireetedde Omukristaayo Okuluubirira Enkizo mu Kibiina?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Abavubuka Muluubirire Ebyo Ebiweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Weeyongere Okukulaakulana
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Apuli lup. 8
Yakobo ameggana ne malayika.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kiki Ekisinga Obukulu mu Bulamu Bwange?

Yakobo yameggana ne malayika asobole okufuna ekintu ekisinga obukulu, nga gwe mukisa gwa Yakuwa. (Lub 32:24-31; Kos 12:3, 4) Ate ffe? Tuli beetegefu okugondera Yakuwa tusobole okufuna emikisa gye? Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tulina okusalawo wakati w’okugenda mu nkuŋŋaana n’okukola essaawa ezisukka ku za bulijjo ku mulimu, tunaasalawo tutya? Bwe tuwa Yakuwa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe, ajja ‘kutuyiira emikisa mingi nnyo gibulwe ne we gigya.’ (Mal 3:10) Ajja kutuwa obulagirizi, atukuume, era akole ne ku byetaago byaffe.​—Mat 6:33; Beb 13:5.

MULABE VIDIYO, NYWERERA KU BIRUUBIRIRWA EBY’EBY’OMWOYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mwannyinaffe aweereza nga payoniya akola omulimu gw’okutaputa olulimi lwa bakiggala.

    Ekintu mwannyinaffe kye yali ayagala ennyo kyamugezesa kitya?

  • Mwannyinaffe y’omu akolera mu ofiisi mu budde obw’ekiro.

    Omulimu gwaffe guyinza gutya okuba ekigezo gye tuli?

  • Timoseewo asoma omuzingo ekiro ng’ayimiridde okumpi n’eddirisa.

    Lwaki Timoseewo yali yeetaaga okweyongera okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo wadde nga yali mukulu mu by’omwoyo?​—1Ti 4:16

  • Payoniya ne mwannyinaffe omulala babuuza omuyizi wa Bayibuli gwe bagenze okuyigiriza Bayibuli awaka we.

    Kiki ekisinga obukulu mu bulamu bwo?

    Tuyinza tutya okumanya ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share