OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tendereza Yakuwa ng’Oweereza nga Payoniya
Abayisirayiri baalina ensonga nnyingi ezaabaleetera okutendereza Yakuwa. Yali abanunudde okuva e Misiri era yali abawonyezza eggye lya Falaawo! (Kuv 15:1, 2) Yakuwa akyeyongera okukolera abantu be ebintu ebirungi. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo by’atukolera?—Zb 116:12.
Engeri emu kwe kuweereza nga payoniya omuwagizi oba payoniya owa bulijjo. Osobola okusaba Yakuwa akuwe amaanyi era akwagazise okuweereza nga payoniya. (Baf 2:13) Bangi basooka kuweereza nga bapayoniya abawagizi. Oyinza okusalawo okuweereza nga payoniya omuwagizi mu mwezi gwa Maaki ne Apuli era ne mu mwezi omulabirizi w’ekitundu lw’aba akyalidde ekibiina kyammwe. Mu myezi egyo osobola okuwaayo essaawa 30 oba 50. Oluvannyuma lw’okuloza ku ssanyu eriva mu kuweereza nga payoniya omuwagizi, oyinza okwagala okuweereza nga payoniya owa bulijjo. N’abo abakola ekiseera kyonna oba abalina obulwadde obubatawaanya basobodde okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. (mwb16.07 lup. 8) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa agwanidde okutenderezebwa!—1By 16:25.
MULABE VIDIYO, BANNYINAFFE BASATU MU MONGOLIA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Kusoomoozebwa ki bannyinaffe abo kwe bavvuunuka okusobola okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo?
Mikisa ki gye bafunye?
Nkizo ki endala ze bafunye olw’okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo?
Ekyokulabirako kyabwe kikutte kitya ku balala?