EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 19-20
Engeri Amateeka Ekkumi Gye Gakukwatako
Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa. (Bak 2:13, 14) Kati olwo, Amateeka Ekkumi n’ebiragiro ebirala byonna Katonda bye yawa Abayisirayiri bitukwatako bitya leero?
Bituyamba okumanya endowooza ya Yakuwa ku nsonga ezitali zimu
Bituyamba okumanya Yakuwa by’ayagala tukole okusobola okumusanyusa
Bitulaga engeri gye tusaanidde okuyisaamu abalala
Amateeka Ekkumi gakuyigiriza ki ku Yakuwa?