LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Noovemba lup. 4
  • Wa Yakuwa Ekisingayo Obulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wa Yakuwa Ekisingayo Obulungi
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • Yakuwa Muwe Ekisingayo Obulungi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • “Nja Kuba Naawe ng’Oyogera”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Ssaddaaka ez’Okutendereza Ezisanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2022
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Noovemba lup. 4
Ebifaananyi: Ebiweebwayo eby’enjawulo Yakuwa bye yakkiriza Abayisirayiri okuwaayo. 1. Obuwunga obutaliimu mpulunguse. 2. Ejjiba. 3. Ab’omu maka baleese endiga eri kabona.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 4-5

Wa Yakuwa Ekisingayo Obulungi

5:5-7, 11

Okuba omwavu tekyalemesanga Muyisirayiri yenna kuzzaawo nkolagana ye ne Yakuwa. N’Omuyisirayiri omwavu ennyo yali asobola okuwa Yakuwa ekiweebwayo ekikkirizibwa, kasita kyabanga nga kye kisingayo obulungi. Baali basobola okuwaayo obuwunga, naye Yakuwa yali ayagala “obutaliimu mpulunguse,” ng’obwo omuntu bwe yafumbiranga omugenyi ow’ekitiibwa. (Lub 18:6) Ne leero, Yakuwa ayagala “ssaddaaka ey’okutendereza” gye tumuwa ebe nga y’esingayo obulungi, ne bwe kiba nti embeera eyinza obutatusobozesa kukola kye twandyagadde.​—Beb 13:15.

Ekyo kiyinza kitya okukuzzaamu amaanyi bw’oba nga tokyasobola kuweereza Yakuwa nga bwe wakolanga edda, oboolyawo olw’obulwadde?

Ebifaananyi: Bannyinaffe babiri bawa Yakuwa ‘ssaddaaka ey’okutendereza’ ekisingayo obulungi. 1. Mwannyinaffe aweerereza mu nsi endala abuulira omukazi mu katale. 2. Mwannyinaffe akaddiye awandiika amabaluwa.
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share