LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Ddesemba lup. 3
  • Bwe Tuwagira Enteekateeka ya Yakuwa ey’Okukangavvula Tuba Twoleka Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bwe Tuwagira Enteekateeka ya Yakuwa ey’Okukangavvula Tuba Twoleka Okwagala
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Lwaki Okugoba Omwonoonyi mu Kibiina Kiba Kikolwa kya Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Omuntu gw’Oyagala Ennyo bw’Ava ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Okukangavvula—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Ddesemba lup. 3

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bwe Tuwagira Enteekateeka ya Yakuwa ey’Okukangavvula Tuba Twoleka Okwagala

Okugoba mu kibiina omwonoonyi ateenenyezza, kikuuma ekibiina nga kiyonjo era kiyamba omwonoonyi oyo. (1Ko 5:6, 11) Bwe tuwagira enteekateeka eyo ey’okukangavvula, tuba twoleka okwagala. Naye ekyo kyoleka kitya okwagala, ng’ate okugoba omuntu mu kibiina kireeta obulumi eri oyo aba agobeddwa, ab’eŋŋanda ze, n’abakadde abamuwadde okukangavvula okwo?

Okusookera ddala, tuba tulaga nti tetwagala linnya lya Yakuwa lisiigibwe nziro era nti twagala emitindo gye egy’obutuukirivu. (1Pe 1:14-16) Ate era tuba tulaga nti twagala omuntu oyo agobeddwa. Wadde nga okukangavvulwa kireeta obulumi, kiyinza okuleetera omuntu okubala “ekibala eky’emirembe eky’obutuukirivu.” (Beb 12:5, 6, 11) Bwe tweyongera okukolagana n’omuntu eyagobebwa mu kibiina oba eyeeyawula ku kibiina, tuba tumulemesa okuganyulwa mu kukangavvulwa Yakuwa kwe yamuwa. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa akangavvula abantu be “ku kigero ekisaanira.” (Yer 30:11) Tusuubira nti omuntu oyo ajja kudda eri Kitaffe omusaasizi. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, tusaanidde okuwagira enteekateeka ya Yakuwa ey’okukangavvula n’okufuba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.​—Is 1:16-18; 55:7.

MULABE VIDIYO, SIGALA NG’OLI MWESIGWA ERI YAKUWA N’OMUTIMA GWO GWONNA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa n’Omutima gwo Gwonna.’ Gabriella ne Ben nga bakaaba oluvannyuma lw’okusoma ebbaluwa ya mutabani waabwe avudde awaka.

    Abazadde Abakristaayo bawulira batya omwana waabwe bw’ava ku Yakuwa?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa n’Omutima gwo Gwonna.’ Mikwano gya Gabriella ne Ben bababudaabuda oluvannyuma lw’enkuŋŋaana.

    Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba ab’omu maka omuli omuntu agobeddwa mu kibiina?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa n’Omutima gwo Gwonna.’ Gabriella afumiitiriza ku byaliwo nga Koola amaze okujeemera Yakuwa.

    Kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekiraga nti okubeera abeesigwa eri Yakuwa kikulu nnyo okusinga okubeera abeesigwa eri ab’omu maka gaffe?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa n’Omutima gwo Gwonna.’ Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, Gabriella abuulira Ben ku mesegi mutabani we gye yamuweerezza.

    Tuyinza tutya okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa okusinga eri ab’omu maka gaffe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share