LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w21 Ssebutemba lup. 26-31
  • Omuntu gw’Oyagala Ennyo bw’Ava ku Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuntu gw’Oyagala Ennyo bw’Ava ku Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • WEEWALE OKWESALIRA OMUSANGO
  • BY’OSOBOLA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUSIGALA NG’OLI MUNYWEVU MU BY’OMWOYO
  • EKIBIINA KISOBOLA OKUYAMBAKO
  • SIGALA NG’OLINA ESSUUBI ERA WEEYONGERE OKWESIGA YAKUWA
  • Engeri y’Okuyisaamu Omuntu Agobeddwa mu Kibiina
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Lwaki Okugoba Omwonoonyi mu Kibiina Kiba Kikolwa kya Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laga Obuwulize obw’Ekikristaayo gw’Olinako Oluganda bw’Agobebwa mu Kibiina
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Ssebutemba lup. 26-31

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39

Omuntu gw’Oyagala Ennyo bw’Ava ku Yakuwa

“Nga baamujeemera emirundi mingi . . . ne bamunakuwaza.”​—ZAB. 78:40.

OLUYIMBA 102 “Yambanga Abanafu”

OMULAMWAa

1. Abantu abamu bakwatibwako batya ng’omuntu waabwe agobeddwa mu kibiina?

OLINAYO omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo eyagobebwa mu kibiina? Ekyo kiruma nnyo! Mwannyinaffe ayitibwa Hildab agamba nti: “Omwami wange gwe nnali mmaze naye emyaka 41 mu bufumbo bwe yafa, nnalowooza nti ekyo kye kintu ekikyasinzeeyo okundeetera obulumi. Naye mutabani wange ne mukyala we, n’abaana baabwe bwe baava ku Yakuwa, nnawulira obulumi bungi nnyo n’okusingawo.”

Taata akutte ensawo alekawo ab’omu maka ge. Maama awambaatidde abaana be ababiri abakaaba.

Yakuwa amanyi obulumi bw’oyitamu ng’omuntu gw’oyagala amuvuddeko (Laba akatundu 2-3)d

2-3. Okusinziira ku Zabbuli 78:40, 41, Yakuwa awulira atya abaweereza be bwe bamuvaako?

2 Lowooza ku bulumi Yakuwa bw’ateekwa okuba nga yawulira abamu ku b’omu maka ge, bamalayika, bwe baamuvaako! (Yud. 6) Ate era lowooza ku bulumi obungi bw’ateekwa nga yawulira abantu be yali ayagala ennyo, Abayisirayiri, bwe baamujeemera enfunda n’enfunda. (Soma Zabbuli 78:40, 41.) Ba mukakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu naye alumwa ng’omu ku mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo amuvuddeko. Ategeera bulungi obulumi bw’oyitamu. Ajja kukuzzaamu amaanyi era ajja kukuyamba.

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba kye tusobola okukola okusobola okufuna obuyambi bwa Yakuwa bwe tuba nga tulina obulumi olw’omuntu waffe okugobebwa mu kibiina. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuyamba abalala mu kibiina aboolekagana n’ekizibu ekyo. Naye ka tusooke tulabe endowooza etali nnungi gye tulina okwewala.

WEEWALE OKWESALIRA OMUSANGO

4. Abazadde bawulira batya ng’omwana waabwe avudde ku Yakuwa?

4 Omwana bw’ava ku Yakuwa, abazadde batera okwebuuza obanga balina kye bataakola okuyamba omwana oyo okunywerera mu mazima. Ow’oluganda ayitibwa Luke ayogera bw’ati ku ekyo ekyaliwo nga mutabani we agobeddwa mu kibiina: “Nneesalira omusango. Nnalootanga ebirooto eby’entiisa. Oluusi nnakaabanga, era omutima gwannumanga nnyo.” Mwannyinaffe ayitibwa Elizabeth naye eyayolekagana n’ekizibu kye kimu ayogera bw’ati ku ngeri gye yawuliramu: “Muli nneebuuzanga nti, kikyamu ki kye nnakola? Nnawulira nga nnali nnemereddwa okuyamba omwana wange okufuula amazima agage.”

5. Omuntu bw’ava ku Yakuwa, ani aba avunaanyizibwa?

5 Tusaanidde okukijjukira nti buli omu ku ffe Yakuwa yamuwa eddembe ery’okwesalirawo. N’olwekyo tusobola okusalawo obanga tunaamugondera oba nedda. Abaana abamu abalina abazadde abataabateerawo kyakulabirako kirungi, baasalawo okuweereza Yakuwa n’okusigala nga beesigwa gy’ali. Ate abaana abalala abalina abazadde abaafuba ennyo okubayamba okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Bayibuli, bwe baakula baava ku Yakuwa. Bwe kityo, buli muntu alina okwesalirawo obanga anaaweereza Yakuwa. (Yos. 24:15) N’olwekyo, abazadde abalina omwana eyava ku Yakuwa, mwewale okwesalira omusango nti mmwe muvunaanyizibwa.

6. Omwana ayinza kukwatibwako atya nga muzadde we avudde ku Yakuwa?

6 Oluusi omuzadde y’ava mu mazima, era oboolyawo n’alekawo n’ab’omu maka ge. (Zab. 27:10) Ekyo kiyisa bubi nnyo abaana ababadde baagala ennyo muzadde waabwe era nga bamussaamu ekitiibwa. Esther, alina taata we eyagobebwa mu kibiina, agamba nti: “Emirundi mingi nnakaabanga, kubanga nnali nkimanyi nti yali taddiridde buddirizi mu by’omwoyo. Yali avudde ku Yakuwa mu bugenderevu. Njagala nnyo taata wange, n’olwekyo bwe yagobebwa mu kibiina, buli kiseera nnabanga mu bulumi olw’okumulowoozaako. Nnatuuka n’okufuna obulumi olw’omutima okuntundugga.”

7. Yakuwa awulira atya bw’alaba omwana ayita mu bulumi olwa muzadde we okugobebwa mu kibiina?

7 Abaana, bwe kiba nti omu ku bazadde bammwe yagobebwa mu kibiina, tulumirwa wamu nammwe! Mube bakakafu nti Yakuwa ategeera bulungi obulumi bwe mulina. Abaagala nnyo era abasiima nnyo olw’okuba abeesigwa gy’ali, era naffe bwe tutyo. Ate era mukijjukire nti si mmwe muvunaanyizibwa ku ekyo muzadde wammwe kye yasalawo. Nga bwe kyogeddwako waggulu, Yakuwa yawa buli muntu eddembe ly’okwesalirawo. Era buli muntu eyeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa, alina okwetikka “omugugu gwe ogw’obuvunaanyizibwa.”​—Bag. 6:5, obugambo obuli wansi.

8. Biki ab’eŋŋanda z’omuntu eyagobebwa bye basobola okukola nga bwe bamulindirira okudda eri Yakuwa? (Laba akasanduuko, “Komawo eri Yakuwa.”)

8 Omuntu wo bw’ava ku Yakuwa, kya bulijjo okuba n’essuubi nti luliba olwo n’akomawo gy’ali. Naye mu kiseera kino nga tannadda, kiki ky’osaanidde okukola? Osaanidde okufuba okunyweza okukkiriza kwo. Bw’okola bw’otyo, oba ossaawo ekyokulabirako ekirungi eri abalala b’obeera nabo mu maka era oboolyawo n’eri eyo eyagobebwa. Ate era ekyo kijja kukusobozesa okufuna amaanyi okwaŋŋanga embeera eyo enzibu. Ka tulabe ebintu ebitali bimu by’osobola okukola.

Komawo eri Yakuwa

Omusumba ng’asitulidde akaliga akato mu kifuba kye.

Maama omu agamba nti: “Ebigambo ebiri mu Isaaya 55:7 biraga ekyo kye njagaliza omwana wange eyagobebwa mu kibiina. Wagamba nti: ‘Akomewo eri Yakuwa anaamusaasira, eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.’” Bw’oba nga wava ku Yakuwa, gy’onookoma okwanguwa okukomawo gy’ali, gy’ojja okukoma okuba omusanyufu. Ebiriwo mu nsi biraga nti Amagedoni anaatera okutuuka. Ate era obulamu mu nsi eno bumpi nnyo era tetuyinza kumanya kinaabaawo nkya. Tewali n’omu ku ffe ayinza kumanya obanga enkya anaaba mulamu.​—Yak. 4:13, 14.

Brocuwa Komawo eri Yakuwac egamba nti: “Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali. Ajja kukuyamba okuvvuunuka ebikweraliikiriza, okugonjoola ebyakunyiiza, n’okufuna emirembe mu birowoozo ne mu mutima olw’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Oluvannyuma ojja kuwulira ng’oyagala nnyo okuweereza Yakuwa ng’oli wamu ne bakkiriza banno.”​—1 Peet. 2:25.

c Yakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era eri mu nnimi nnyingi ku jw.org.

BY’OSOBOLA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUSIGALA NG’OLI MUNYWEVU MU BY’OMWOYO

9. Biki by’osobola okukola okusobola okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa? (Laba n’akasanduuko “Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukubudaabuda ng’Omuntu Wo Avudde ku Yakuwa.”)

9 Kikulu okunyweza okukkiriza kwo n’okw’abalala b’obeera nabo mu maka. Ekyo oyinza kukikola atya? Funa amaanyi agava eri Yakuwa ng’onywerera ku nteekateeka y’okwesomesa Ekigambo kye n’okukifumiitirizaako, era n’okubangawo mu nkuŋŋaana. Joanna, alina taata we ne muganda we abaava mu mazima, agamba nti: “Nfuna emirembe mu mutima bwe nsoma ku bantu nga Abigayiri, Eseza, Yobu, Yusufu, ne Yesu. Ebyokulabirako byabwe binzizaamu amaanyi era bikendeeza ku bulumi bwe mba nabwo. Ate era n’ennyimba zaffe ezitera okufulumira mu programu eya buli mwezi zinzizaamu nnyo amaanyi.”

Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukubudaabuda ng’Omuntu Wo Avudde ku Yakuwa

  • Zabbuli 30:10

  • Zabbuli 34:4, 6, 18, 19

  • Zabbuli 39:12

  • Zabbuli 61:1, 2

  • Zabbuli 94:17-19

  • Abeefeso 3:20

  • Abafiripi 4:6, 7

10. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 32:6-8 bituyamba bitya okwaŋŋanga obulumi bwe tuyitamu?

10 Tegeeza Yakuwa ebikuli ku mutima. Bw’oba ng’oyita mu bulumi, tolekaayo kumusaba. Saba Kitaffe ow’omu ggulu akuyambe okutunuulira embeera nga naye bw’agitunuulira, ‘n’okukuwa amagezi era akulage ekkubo ly’olina okuyitamu.’ (Soma Zabbuli 32:6-8.) Kya lwatu nti kiyinza obutaba kyangu kubuulira Yakuwa ngeri gy’owuliramu. Naye ategeera bulungi obulumi bw’olina ku mutima. Akwagala nnyo era akukubiriza okumweyabiza.​—Kuv. 34:6; Zab. 62:7, 8.

11. Okusinziira ku Abebbulaniya 12:11, lwaki tusaanidde okwesiga okukangavvula Yakuwa kw’awa? (Laba n’akasanduuko, “Okugoba Omuntu mu Kibiina​—Nteekateeka ya Yakuwa ey’Okwagala.”)

11 Wagira enteekateeka y’okugoba omwonoonyi mu kibiina. Enteekateeka eyo ya Yakuwa. Okukangavvula kw’awa kuganyula buli muntu nga mwe muli n’omwonoonyi. (Soma Abebbulaniya 12:11.) Abamu mu kibiina bayinza okugamba nti abakadde tebaasazeewo bulungi okugoba omuntu mu kibiina. Naye kijjukire nti ebintu ebibi omuntu oyo bye yakola baba tebaagala kubyogerako. N’olwekyo, tuba tetumanyi byonna bizingirwamu. Kiba kya magezi okwesiga abakadde ababa bakoze ku nsonga nti baafubye okukolera ku Byawandiikibwa, n’okulamula ‘ku lwa Yakuwa.’​—2 Byom. 19:6.

Okugoba Omuntu mu Kibiina​—Nteekateeka ya Yakuwa ey’Okwagala

Okugoba omwonoonyi mu kibiina kyoleka kitya okwagala kwa Yakuwa?

  1. 1. Okwagala kuleetera abakadde okufuba ennyo okuyamba omwonoonyi. Omuntu okugobebwa mu kibiina alina okuba ng’akoze ekibi eky’amaanyi ate n’agaana okwenenya.​—Beb. 12:7, 9-11.

  2. 2. Okugoba omwonoonyi kikuuma ekibiina. Omwonoonyi ateenenya aba ng’omuntu alina obulwadde obukwata ennyo era nga yeetaaga okwawulibwa ku balala okusobola okubakuuma baleme okulwala.​—1 Kol. 5:6, 7, 11-13.

  3. 3. Omuntu bw’agobebwa mu kibiina kiyinza okumuviirako okwenenya. Bangi ku abo abaagobebwa beekuba mu kifuba ne bakomawo eri Yakuwa.​—Luk. 15:11-24.

  4. 4. Omwonoonyi bwe yeenenya n’akomawo eri Yakuwa, abali mu ggulu basanyuka era n’ekibiina kimwaniriza n’essanyu.​—Luk. 15:7.

12. Miganyulo ki abamu gye bafunye olw’okuwagira enteekateeka ya Yakuwa ey’okugoba mu kibiina aboonoonyi abateenenya?

12 Bw’owagira ekyo abakadde kye baba basazeewo eky’okugoba omuntu wo mu kibiina, kiyinza okumuyamba okukomawo eri Yakuwa. Mwannyinaffe ayitibwa Elizabeth ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Tekyali kyangu n’akatono gye tuli obutaba na nkolagana yonna ne mutabani waffe. Naye bwe yamala okukomawo mu kibiina, yagamba nti ddala yali agwanidde okugobebwa. Oluvannyuma lw’ekiseera yagamba nti alina bingi bye yali ayize.” Era Elizabeth agamba nti: “Nnakiraba nti okukangavvula Yakuwa kw’atuwa kwa muganyulo.” Omwami we Mark agamba nti: “Nga wayiseewo ekiseera, mutabani waffe yatugamba nti emu ku nsonga eyamuyamba okukomawo eri Yakuwa kwe kuba nti twewalira ddala okukolagana naye. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okuba abawulize gy’ali.”

13. Kiki ekiyinza okukuyamba okugumira obulumi bw’olina?

13 Yogerako n’ab’emikwano abategeera embeera gy’oyitamu. Yogerako n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo abasobola okukuyamba okuba n’endowooza ennungi. (Nge. 12:25; 17:17) Joanna, ayogeddwako waggulu yagamba nti: “Mu mutima gwange nnawulira nga ndi nzekka. Naye bwe nnayogerako ne mikwano gyange egyesigika, kyannyamba okuguma.” Naye kiki ky’osaanidde okukola singa abamu mu kibiina boogera ebintu ebikumalamu amaanyi?

14. Lwaki tusaanidde ‘okweyongera okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga’?

14 Bakkiriza banno bagumiikirize. Ekituufu kiri nti abamu bayinza okwogera mu ngeri eteri nnungi. (Yak. 3:2) Ffenna tetutuukiridde. N’olwekyo, teweewuunya singa abamu tebamanyi kya kwogera oba mu butali bugenderevu boogera ebintu ebikulumya. Jjukiranga okubuulirira kwa Paulo kuno: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.” (Bak. 3:13) Mwannyinaffe omu alina omu ku b’eŋŋanda ze eyagobebwa mu kibiina, agamba nti: “Yakuwa yannyamba okusonyiwa baganda bange abaagezaako okunzizaamu amaanyi naye ate mu kifo ky’ekyo ne bannumya bulumya.” Kiki abalala kye basobola okukola okuyamba abo abalina ab’eŋŋanda zaabwe abaagobebwa mu kibiina?

EKIBIINA KISOBOLA OKUYAMBAKO

15. Kiki kye tusobola okukola okuyamba abo abalina omuntu waabwe eyagobebwa mu kibiina?

15 Beera wa kisa era wa mukwano eri bakkiriza banno abeesigwa abalina abantu baabwe abaagobebwa mu kibiina. Mwannyinaffe ayitibwa Miriam yali yeeraliikirira okugenda mu nkuŋŋaana oluvannyuma lwa mwannyina okugobebwa. Agamba nti: “Nnali nneeraliikirira ekyo abantu kye bandibadde boogera. Naye waliwo bakkiriza bannange nabo abaayisibwa obubi olw’ekyo ekyali kibaddewo era tebalina kintu kibi kye baayogera ku mwannyinaze. Mbeebaza nnyo kubanga bannyamba okuwulira nti si nze nzekka eyali ayita mu bulumi.” Mwannyinaffe omulala agamba nti: “Oluvannyuma lwa mutabani waffe okugobebwa mu kibiina, ab’emikwano bajja ne batubudaabuda. Abamu baagambanga nti baali tebamanyi kya kwogera. Baakaabira wamu nange, ate abalala bampandiikira obubaluwa. Bannyamba nnyo mu kiseera ekyo ekitaali kyangu!”

16. Ekibiina kiyinza kitya okweyongera okubudaabuda n’okuzzaamu amaanyi abo abalina ab’eŋŋanda zaabwe abaagobebwa mu kibiina?

16 Weeyongere okuyamba bakkiriza banno abalina omuntu waabwe eyagobebwa mu kibiina. Beetaaga nnyo okuzzibwamu amaanyi n’okulagibwa okwagala. (Beb. 10:24, 25) Oluusi abo abalina omuntu waabwe eyagobebwa mu kibiina bawulira nti baboolebwa mu kibiina. Ekyo tokiganya kubaawo! Naddala abaana abalina bazadde baabwe abaagobebwa mu kibiina beetaaga okusiimibwa ennyo n’okuzzibwamu amaanyi. Maria, alina omwami we eyagobebwa mu kibiina era eyalekawo amaka ge, agamba nti: “Abamu ku mikwano gyange bajjanga awaka ne batufumbira emmere, era ne bannyambako nga njigiriza abaana bange Bayibuli. Baalumirwa wamu nange era baakaabira wamu nange. Abalala bwe baali banjogerako eby’obulimba, bampolereza. Mazima ddala banzizaamu nnyo amaanyi!”​—Bar. 12:13, 15.

Maama n’abaana be nga baaniriza abakadde abazze awaka waabwe.

Ekibiina kisobola okuzzaamu amaanyi abo abalina omuntu waabwe eyagobebwa (Laba akatundu 17)e

17. Kiki abakadde kye bayinza okukola okubudaabuda abo abalina obulumi ku mutima?

17 Abakadde, mukozese buli kakisa ke mufuna okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe abeesigwa abalina abantu baabwe abaagobebwa mu kibiina. Okusingira ddala obuvunaanyizibwa obwo bwammwe. (1 Bas. 5:14) Mubazzengamu amaanyi ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Mubakyalireko era musabireko wamu nabo. Mukole enteekateeka okubuulirako awamu nabo, oba ebiseera ebimu mubayite okubeegattako mu kusinza kw’amaka. Abakadde basaanidde okubudaabuda abo abalina ennaku ku mutima, okubalaga okwagala, n’okubafaako.​—1 Bas. 2:7, 8.

SIGALA NG’OLINA ESSUUBI ERA WEEYONGERE OKWESIGA YAKUWA

18. Okusinziira ku 2 Peetero 3:9, kiki Katonda ky’ayagaliza aboonoonyi?

18 Yakuwa “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (Soma 2 Peetero 3:9.) Omuntu ne bw’akola ekibi eky’amaanyi, obulamu bwe buba bukyali bwa muwendo eri Yakuwa. Lowooza ku muwendo omunene ennyo gwe yasasula bwe yawaayo Omwana we gw’ayagala ennyo okuba ekinunulo ku lwa buli omu ku ffe. Yakuwa afuba okuyamba aboonoonyi ng’abo okukomawo gy’ali. Asuubira nti bajja kusalawo okudda gy’ali, nga bwe kiragibwa mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya. (Luk. 15:11-32) Bangi abaali bavudde mu mazima oluvannyuma baakomawo eri Kitaabwe ow’omu ggulu era ekibiina kyabaaniriza n’essanyu. Elizabeth, ayogeddwako waggulu, yasanyuka nnyo mutabani we bwe yakomawo mu kibiina. Agamba nti: “Nnasiima nnyo abo bonna abaatuyamba obutaggwaamu ssuubi.”

19. Lwaki tusobola okweyongera okwesiga Yakuwa?

19 Weeyongere okwesiga Yakuwa. Bulijjo obulagirizi bw’atuwa butuyamba. Abo bonna abamwagala era abamusinza abafaako nnyo, ababudaabuda, era abaagala nnyo. Ba mukakafu nti Yakuwa tasobola kukwabulira ng’oyita mu bulumi. (Beb. 13:5, 6) Mark ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Yakuwa teyatwabulira. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, aba kumpi naffe.” Yakuwa asobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7) Mazima ddala osobola okusigala ng’oli mwesigwa era ng’olina essuubi, omuntu wo ne bw’aba ng’avudde ku Yakuwa.

BIKI BY’OYIZE MU BYAWANDIIKIBWA BINO?

  • Zabbuli 78:40, 41

  • Zabbuli 32:6-8

  • Abebbulaniya 12:11

OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku

a Omuntu gw’oyagala bw’ava ku Yakuwa, kireeta obulumi bungi! Ekitundu kino kiraga engeri Katonda gy’awuliramu ng’ekyo kibaddewo. Era kiraga ebintu ab’eŋŋanda z’omuntu oyo abeesigwa eri Yakuwa bye basobola okukola okugumira obulumi n’okusigala nga banywevu mu by’omwoyo. Ate era kiraga bonna mu kibiina bye basobola okukola okubudaabuda n’okuyamba ab’eŋŋanda z’omuntu aba agobeddwa.

b Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

d EBIFAANANYI: Ow’oluganda bw’ava ku Yakuwa era n’alekawo ab’omu maka ge, mukyala we n’abaana baabwe bafuna obulumi bungi.

e EBIFAANANYI: Abakadde bazze okuzzaamu maama n’abaana be amaanyi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share