Laga Obuwulize obw’Ekikristaayo gw’Olinako Oluganda bw’Agobebwa mu Kibiina
1. Mbeera ki eyinza okugezesa obuwulize bw’Omukristaayo?
1 Enkolagana wakati w’ab’eŋŋanda eba ya maanyi nnyo. Kino kireetawo okugezesebwa okw’amaanyi eri Omukristaayo singa munne mu bufumbo oba omwana we, oba omuzadde oba oyo gw’alinako oluganda agobebwa mu kibiina oba singa akyeyawulako. (Mat. 10:37) Abakristaayo abawulize, bandiyisizza batya omuntu ng’oyo? Bandimuyisizza mu ngeri ya njawulo singa baba basula mu nju y’emu? Okusooka, ka tulabe emisingi gya Baibuli egikwata ku nsonga eyo, era nga mu ngeri y’emu gikwata ne ku abo ababa bagobeddwa mu kibiina oba abakyeyawuddeko.
2. Okusinziira ku Baibuli, Abakristaayo balina kuyisa batya abo abagobeddwa mu kibiina?
2 Engeri y’Okuyisaamu Abagobeddwa: Ekigambo kya Katonda kiragira Abakristaayo obutakolagana na muntu agobeddwa mu kibiina: ‘Temwegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow’oluganda bw’aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw’atyo n’okulya temulyanga naye. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.’ (1 Kol. 5:11, 13) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 18:17 nabyo bikwata bulungi ku nsonga eno: “[Oyo agobeddwa] abeere gy’oli nga munnaggwanga era ng’omuwooza.” Abaali bawuliriza Yesu baali bamanyi bulungi nti Abayudaaya tebaalina nkolagana yonna na Bannamawanga era baaboolanga abawooza. Mu ngeri eyo, Yesu yali alagira abayigirizwa be baleme kwegatta n’abo abaagobebwa mu kibiina.—Laba Watchtower aka Ssebutemba 15, 1981, empapula 18-20.
3, 4. Nkolagana ki n’omuntu agobeddwa oba eyeeyawudde ku kibiina etakkirizibwa?
3 Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo abawulize tebalina nkolagana yonna ya bya mwoyo n’omuntu agobeddwa mu kibiina. Naye ebirala bingi bizingirwamu. Ekigambo kya Katonda kigamba ‘n’okulya temulyanga naye.’ (1 Kol. 5:11) N’olwekyo, twewala okukolagana n’omuntu agobeddwa mu kibiina. Kino kitegeeza nti tetuyinza kugenda naye ku kabaga, kulaba kapiira naye, kugula wamu ebintu, oba okulaba naye emizannyo oba okulya naye emmere mu nju oba mu wooteeri.
4 Ate kiri kitya okwogera n’omuntu agobeddwa mu kibiina? Wadde nga Baibuli teyogera ku buli mbeera yonna eyinza okubaawo, 2 Yokaana 10 watuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ensonga: “Omuntu yenna bw’ajjanga gye muli n’ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga.” Watchtower aka Ssebutemba 15, 1981, ku lupapula 25, kaayogera kati ku nsonga eyo: “Okubuuza kuyinza okuba entandikwa y’okunyumya n’omuntu, kabekasinge n’omukwano guyinza okutandikira awo. Ddala twandyagadde okwenyigira mu ddaala erisooka mu kukolagana n’omuntu eyagobebwa mu kibiina?”
5. Omuntu bw’agobebwa mu kibiina, biki by’afiirwa?
5 Watchtower eyo yennyini egamba bw’eti ku lupapula 31: “Amazima gali nti Omukristaayo bwe yeegabula eri ekibi n’agobebwa mu kibiina, afiirwa bingi: enkolagana ye ennungi ne Katonda; . . . enkolagana ennungi n’ab’oluganda; nga mw’otwalidde n’enkolagana gye yalina n’Abakristaayo b’alinako oluganda.”
6. Omukristaayo kimwetaagisa okwekutulira ddala ku w’oluganda agobeddwa mu kibiina bwe baba nga babeera mu nnyumba y’emu? Nnyonnyola.
6 Ababeera mu Nju Emu: Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo ababeera mu nju y’emu n’omuntu agobeddwa mu kibiina tebalina kunyumya naye, kulya naye wadde okukolagana naye mu bulamu bwabwe obwa bulijjo? Watchtower aka Apuli 15, 1991, kagamba bwe kati ku lupapula 22, mu bugambo obuwandiikiddwa mu nnukuta entono: “Mu nnyumba y’Omukristaayo bwe mubaamu ow’oluganda eyagobebwa mu kibiina, aba akyasobola okukolagana n’ab’omu maka ago era n’okwenyigira mu bikolebwa mu maka buli lunaku.” N’olwekyo, kiri eri ab’omu maka okusalawo wa oyo eyagobebwa mu kibiina walina okukoma ku bikwata ku kuliira awamu nabo oba ebintu ebirala ebikolebwa awaka. Kyokka, tebandiwadde baluganda kifaananyi kiraga nti ebintu byonna bikyali kye kimu nga bwe byali ng’omuntu oyo tannagobebwa mu kibiina.
7. Nkyukakyuka ki ezijjawo mu by’omwoyo, ow’oluganda omu ku b’omu nju bw’agobebwa mu kibiina?
7 Kyokka, Watchtower aka Ssebutemba 15, 1981, olupapula 28, koogera bwe kati ku muntu agobeddwa oba eyeeyawudde ku kibiina: “Enkolagana yonna eyaliwo mu by’omwoyo eba ekomye. Kino kikwata ne ku b’eŋŋanda ze, nga mwe muli n’abo b’asula nabo mu nnyumba y’emu. . . . Ekyo kireetawo enkyukakyuka mu nkolagana eyaliwo mu maka mu by’omwoyo. Ekyokulabirako, omwami bw’agobebwa mu kibiina, mukyala we n’abaana tebajja kuwulira bulungi singa akulembera okusoma Baibuli okw’amaka oba singa okulembera mu kusaba n’okusoma Baibuli. Bw’aba ayagala okusaba, gamba nga mu kiseera eky’okulya emmere, alina eddembe okukikola mu maka ge. Naye abalala bayinza okusaba ku lwabwe mu kasirise. (Nge. 28:9; Zab. 119:145, 146) Naye watya ng’omuntu eyagobebwa mu kibiina, asula awaka, ayagala okubeerawo ng’ab’omu maka basomera awamu Baibuli? Abalala bayinza okumukkiriza okubeerawo n’awuliriza bw’aba nga tajja kugezaako kubayigiriza oba okubategeeza enzikiriza ze.”
8. Buvunaanyizibwa ki abazadde Abakristaayo bwe balina ku mwana omuto mu maka aba agobeddwa mu kibiina?
8 Omwana omuto abeera mu maka bw’agobebwa mu kibiina, bazadde be Abakristaayo baba bakyalina obuvunaanyizibwa okumulabirira. Watchtower aka Noovemba 15, 1988, olupapula 20, kagamba: “Nga bwe balina okweyongera okumuwa emmere, engoye, n’aw’okusula, mu ngeri y’emu balina okumukangavvula n’okumuyigiriza Ekigambo kya Katonda bye kigamba. (Nge. 6:20-22; 29:17) Abazadde abaagazi bayinza okuteekateeka okusoma naye Baibuli awaka, k’abeere nga yagobebwa mu kibiina. Osanga ayinza okuganyulwa mu ngeri esingawo singa basoma naye yekka. Oba bayinza okusalawo yeeyongere okwenyigira mu nteekateeka y’okusoma kw’amaka.”—Era laba mu Watchtower aka Okitobba 1, 2001, empapula 16-17.
9. Omukristaayo ayinza kukolagana kyenkana wa n’oyo gw’alinako oluganda agobeddwa mu kibiina nga tebasula mu nnyumba y’emu?
9 Ab’Eŋŋanda Abatabeera mu Nnyumba y’Emu: Watchtower aka Apuli 15, 1988, olupapula 28 kagamba: “Embeera eba ya njawulo bwe muba temusula mu nnyumba y’emu n’oyo gw’olinako oluganda agobeddwa oba eyeeyawudde ku kibiina. Kumpi kisoboka obutaba na nkolagana yonna naye. Ka wabe nga waliwo ensonga z’ekika ezeetaagisa okwogerako, zirina okukendeerezebwa ddala,’ okusobola okutuukana n’ekiragiro kya Katonda ‘eky’obuteegattanga na muntu yenna’ akola ebibi n’ateenenya. (1 Kol. 5:11) Abakristaayo abawulize balina okufuba obutakolagana nnyo kiteetaagisa na muntu ng’oyo, era ne bakendeereza ddala enkolagana yaabwe n’omuntu oyo mu nsonga za bizinesi.—Era laba The Watchtower aka Ssebutemba 15, 1981, empapula 29-30.
10, 11. Biki Omukristaayo by’alina okulowoozaako nga tannaba kukkiriza oyo gw’alinako oluganda eyagobebwa mu kibiina okukomawo mu maka?
10 Watchtower era eyogera ne ku mbeera endala eyinza okubaawo: “Watya ng’oyo gw’olinako oluganda olw’oku lusegere gamba ng’omwana oba omuzadde nga temubeera mu nnyumba y’emu agobebwa mu kibiina naye ate oluvannyuma n’ayagala akomewo mu maka? Ab’omu maka bayinza okusalawo eky’okukola okusinziira ku mbeera nga bw’eba eri. Ekyokulabirako, omuzadde eyagobebwa mu kibiina ayinza okulwala oba okuba nga takyasobola kweyimirizaawo. Abaana Abakristaayo baba n’obuvunaanyizibwa okumuyamba. (1 Tim. 5:8) . . . Okusalawo kwabwe kuyinza okwesigamizibwa ku nsonga, gamba ebyetaago by’omuzadde, endowooza ye, n’okulumirirwa omukulu w’amaka kwalina eri embeera y’eby’omwoyo ey’ab’omu maka ge.”—Watchtower aka Ssebutemba 15, 1981, empapula 28-9.
11 Bwe kituuka ku mwana, ka magazini ako keeyongera ne kagamba: “Olumu abazadde Abakristaayo bakkiriza omwana eyagobebwa mu kibiina okukomawo mu maka ng’alwadde mu mubiri oba mu nneewulira. Naye mu buli ngeri, abazadde balina okwetegereza embeera ye. Omwana eyagobebwa, abadde abeera yekka kyokka nga kati takyasobola kweyimirizaawo? Oba okusingira ddala ayagala akomewo mu maka asobole okubeera mu bulamu obwangu? Ate empisa ze n’endowooza ye biri bitya? Anaaleeta “ekizimbulukusa” mu maka?—Bag. 5:9.”
12. Egimu ku miganyulo egiva mu nteekateeka y’okugoba abajeemu mu kibiina gye giruwa?
12 Emiganyulo gy’Okubeera Omuwulize Eri Yakuwa: Okugondera enteekateeka y’omu Byawandiikibwa ey’okugoba n’okwewala abakozi b’ebibi abateenenya kya muganyulo. Kikuuma obuyonjo bw’ekibiina era ne kitwawulawo ng’abantu abagoberera emitindo gya Baibuli egya waggulu. (1 Peet. 1:14-16) Kituwa obukuumi eri ebintu ebiyinza okutwonoona. (Bag. 5:7-9) Era kisobozesa omukozi w’ebibi okuganyulwa mu bujjuvu mu kukangavvula kw’afuna okuyinza okumuyamba okubala ‘ebibala eby’emirembe, kwe kugamba obutuukirivu.’—Beb. 12:11.
13. Nkyukakyuka ki amaka agamu ze gaakola, era kiki ekyavaamu?
13 Oluvannyuma lw’okuwuliriza okwogera mu lukuŋŋaana lw’ekitundu, ow’oluganda ne mwannyina baategeera nti baali balina okukola enkyukakyuka mu ngeri gye baali bayisaamu maama waabwe eyali tabeera nabo era ng’amaze emyaka mukaaga ng’agobeddwa mu kibiina. Mangu ddala oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, omusajja oyo yakubira nnyina essimu, era oluvannyuma lw’okumujjukiza nga bwe yali amwagala ennyo, yamunnyonnyola nti baali tebagenda kuddamu kwogera naye okujjako nga waliwo ensonga enkulu ez’omu maka ezeetaagisa okwogerako. Waayitawo ekiseera kitono, maama we n’atandika okugenda mu nkuŋŋaana era oluvannyuma yakomezebwawo mu kibiina. N’omwami we ataali mukkiriza naye yatandika okuyiga Baibuli era oluvannyuma n’abatizibwa.
14. Lwaki twandigondedde enteekateeka y’okugoba abajeemu mu kibiina?
14 Okugondera enteekateeka y’okugoba abajeemu mu kibiina eragibwa mu Byawandiikibwa, kyoleka okwagala kwaffe eri Yakuwa era kimuwa eky’okuddamu eri oyo amuvuma. (Nge. 27:11) Kituviiramu okufuna emikisa gya Yakuwa. Kabaka Dawudi yawandiika bw’ati ku Yakuwa: ‘Kubanga emisango gye gyonna gy’abanga mu maaso gange: n’amateeka ge sigavangamu. Awali omwesigwa onoobeeranga mwesigwa.’—2 Sam. 22:23, 26.