EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI
Kiba kituufu abazadde Abakristaayo okutuula awamu n’omwana waabwe eyagobebwa mu kibiina nga bazze mu nkuŋŋaana?
Magazini eno emaze ebbanga ng’ekubiriza abazadde Abakristaayo okufuba okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo ababa bagobeddwa mu kibiina be bakyabeera nabo awaka, singa ekyo kiba kisaana. Nga bwe kiragibwa mu Watchtower eya Noovemba 15, 1988, olupapula 19 ne 20, abazadde basobola n’okuyigiriza Bayibuli omwana waabwe aba agobeddwa mu kibiina akyabeera nabo awaka.a Kisuubirwa nti omwana ng’oyo asobola okuzzibwamu amaanyi n’akyusa amakubo ge.
Tekiba kikyamu omwana aba agobeddwa mu kibiina okutuula awamu ne bazadde be mu nkuŋŋaana ng’asirise. Okuva bwe kiri nti si kya tteeka muntu aba agobeddwa mu kibiina kutuula mabega mu Kizimbe ky’Obwakabaka, tekiba kikyamu singa omwana eyagobebwa mu kibiina atuula wamu ne bazadde be wonna we baba batudde. Okuva bwe kiri nti abazadde basaanidde okuyamba omwana waabwe mu by’omwoyo, bafuba okulaba nti aganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana. Omwana waabwe bw’atuula awamu nabo, baba basobola okumuyamba okusinga bw’aba ng’atudde yekka.
Watya singa omwana eyagobebwa mu kibiina aba takyabeera wamu na bazadde be? Kiba kitegeeza nti aba tasobola kutuula wamu na bazadde be nga bali mu nkuŋŋaana? Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ezze eraga engeri Abakristaayo gye basaanidde okuyisaamu ab’eŋŋanda zaabwe ababa bagobeddwa mu kibiina naye nga tebabeera nabo waka.b Kyokka, omuntu aba agobeddwa mu kibiina okutuula awamu n’ab’eŋŋanda ze mu nkuŋŋaana ng’asirise kya njawulo nnyo ku kukolagana naye nga tekyetaagisa. Bwe kiba nti ab’eŋŋanda z’omuntu oyo abeesigwa bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku ngeri y’okukolaganamu n’abo ababa bagobeddwa mu kibiina, tewali nsonga lwaki twandifuddeyo ku kifo ki omuntu oyo ky’atuulamu ng’azze mu nkuŋŋaana.—1 Kol. 5:11, 13; 2 Yok. 11.
Omuntu eyagobebwa mu kibiina bw’atuula okumpi n’ow’eŋŋanda ze oba okumpi n’ow’oluganda omulala yenna mu kibiina, tekiba kikyamu, kasita omuntu oyo aba ng’akolera ku bulagirizi obukwata ku abo ababa bagobeddwa mu kibiina. Okugaana omuntu okutuula wonna w’aba ayagadde ng’azze mu nkuŋŋaana, kiyinza okuleetawo obuzibu obutali bumu. Bwe kiba nti abo bonna ababa bazze mu nkuŋŋaana, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda z’omuntu eyagobebwa mu kibiina abeesigwa, bafuba okukolera ku misingi gya Bayibuli egikwata ku ngeri y’okuyisaamu omuntu aba agobeddwa mu kibiina era nga tewali muntu yenna gwe beesittaza, tewabaawo nsonga lwaki twandifuddeyo nnyo ku kifo omuntu w’alina okutuula ng’azze mu nkuŋŋaana.c
a Omwana ayogerwako mu kitundu kino y’oyo atannaweza myaka 18.
b Laba Watchtower eya Ssebutemba 15, 1981, olupapula 29 ne 30.
c Kino kikyusa mu ebyo ebyafulumira mu Watchtower eya Apuli 1, 1953, olupapula 223.