LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Jjanwali lup. 7
  • Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • “Twogera Ennimi za Njawulo, Naye Okwagala Kutugatta”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Jjanwali lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala

Abagenyi okuva mu mawanga ag’enjawulo beekuba ekifaananyi ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna.

Lwaki tunyumirwa nnyo enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu ezibaawo buli mwaka? Okufaananako Abayisirayiri, enkuŋŋaana ennene zituwa akakisa okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe bikumi na bikumi. Ku nkuŋŋaana ezo tuyigirizibwa ebintu ebituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, era tunyumirwa okubeerako awamu ne mikwano gyaffe n’ab’omu maka gaffe. Olw’okuba tusiima nnyo enkuŋŋaana ezo, tufuba okubeerawo ennaku zonna essatu.

Bwe tukuŋŋaana awamu, tetusaanidde kukoma ku kulowooza ku ngeri gye tunaaganyulwamu naye era tusaanidde n’okulowooza ku ngeri gye tuyinza okulagamu abalala okwagala. (Bag 6:10; Beb 10:24, 25) Bwe tufunira ow’oluganda oba mwannyinaffe aw’okutuula oba bwe tukwata ebifo ebyo byokka bye tunaakozesa tuba tulaga nti tetwefaako ffekka. (Baf 2:3, 4) Enkuŋŋaana ennene zituwa akakisa okufuna emikwano emipya. Nga programu tennatandika oba ng’ewedde oba mu kiseera eky’okuwummulamu, tusobola okukifuula ekiruubirirwa kyaffe okunyumyako n’ab’oluganda be tutamanyi tusobole okubamanya. (2Ko 6:13) Emikwano gye tufuna ku nkuŋŋaana ng’ezo gisobola okuba egy’olubeerera! N’ekisinga byonna, abalala bwe balaba nga twoleka okwagala okwa nnamaddala, bayinza okutwegattako mu kuweereza Yakuwa.​—Yok 13:35.

MULABE VIDIYO, ENKUŊŊAANA EZ’ENSI YONNA EZAALINA OMUTWE “OKWAGALA TEKULEMERERWA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, Enkuŋŋaana ez’Ensi Yonna Ezaalina Omutwe “Okwagala Tekulemererwa”! Abagenyi abazze ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna babuuzaganya n’ab’oluganda ab’omu kitundu.

    Abagenyi abaaliwo ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna eza 2019 baalagibwa batya okwagala?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, Enkuŋŋaana ez’Ensi Yonna Ezaalina Omutwe “Okwagala Tekulemererwa”! Ab’oluganda ne bannyinaffe ab’omu kitundu beekuba ekifaananyi n’abagenyi.

    Lwaki kyewuunyisa nnyo okuba nti abantu ba Yakuwa bali bumu era baagalana?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, Enkuŋŋaana ez’Ensi Yonna Ezaalina Omutwe “Okwagala Tekulemererwa”! Ab’Oluganda ne bannyinaffe Abakoleya bakutte ekipande ekyaniriza abagenyi abazze ku lukuŋŋaana olunene nga bwe babawuubira emikono.

    Bintu ki eby’enjawulo ebikwata ku kwagala, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bye baayogerako?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, Enkuŋŋaana ez’Ensi Yonna Ezaalina Omutwe “Okwagala Tekulemererwa”! Omuwala omusanyufu akutte Bayibuli ‘Enkyusa ey’Ensi Empya’ gye yaakafuna.

    Biki by’osobola okukola okwoleka okwagala ku nkuŋŋaana zaffe ennene?

    Okwagala kwayamba kutya ab’oluganda mu Bugirimaani ne mu South Korea okusigala nga bali bumu?

  • Kiki ky’omaliridde okukola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share