EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Bye Tuyigira ku Ngeri Abayisirayiri Gye Baali Bategekeddwamu
Abasajja be balondebwa okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima (Kbl 7:10; it-1-E lup. 497 ¶3)
Abaweereza ba Katonda basaanidde okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi (Kbl 7:11; it-2-E lup. 796 ¶1)
Yakuwa amanyi obusobozi bwa buli muntu kinnoomu (Kbl 8:25, 26; w04 8/1 lup. 30 ¶1)
Yakuwa nga bwe yategeka Abayisirayiri, ne leero ategeka abantu be. Ate era, alaba okufuba buli omu kw’akola okusobola okumuweereza.