EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Alwanirira Isirayiri
Bakabaka bataano beegatta wamu okulwanyisa Abagibiyoni n’Abayisirayiri (Yos 10:5; it-1-E lup. 50)
Yakuwa yalwanyisa bakabaka abo (Yos 10:10, 11; it-1-E lup. 1020)
Yakuwa yayimiriza enjuba mu kifo kimu (Yos 10:12-14; w05 4/1 lup. 31 ¶1)
Bwe tuba nga tuyigganyizibwa, twesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Tukimanyi nti olw’okuba Yakuwa atuyamba, tewali gavumenti esobola kutulemesa kumuweereza.