EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Ekikolimo Yakuwa Akifuula Omukisa
Abamowaabu baali baagala okutuusa akabi ku Bayisirayiri (Kbl 22:3-6)
Yakuwa alina kye yakolawo okuyamba abantu be (Kbl 22:12, 34, 35; 23:11, 12)
Tewali ayinza kulwanyisa Yakuwa n’amuwangula (Kbl 24:12, 13; bt-E lup. 53 ¶5; it-2-E lup. 291)
Tewali kiyinza kulemesa mawulire malungi kubuulirwa nga Katonda bw’ayagala, ka kube kuyigganyizibwa oba butyabaga. Bwe tufuna ebizibu twesiga Kitaffe ow’omu ggulu, era ne tukulembeza okumusinza mu bulamu bwaffe?