BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Faayo ku Balala
Okufaayo ku muntu kizingiramu okutegeera endowooza ye, enneewulira ye ne bye yeetaaga. Abantu basobola okukiraba nti tubafaako era nti twagala okubayamba okuviira ddala ku mutima. Bwe tufaayo ku abo be tubuulira, tuba tubayamba okukitegeera nti Yakuwa abaagala nnyo era abafaako, era ekyo kibaleetera okumwagala.—Baf 2:4.
Bwe tuba nga tufaayo ku balala kijja kweyolekera mu ngeri gye twogeramu nabo, gye tubawulirizaamu, mu ndowooza yaffe, ne mu ngeri gye tukozesaamu ebitundu byaffe eby’omubiri n’endabika yaffe ey’oku maaso. Tusaanidde okukyoleka nti ddala tubafaako. Tusaanidde okufaayo ku ebyo bye baagala, bye bakkiririzaamu, era ne ku mbeera zaabwe. Bawe amagezi agasobola okubayamba mu bulamu bwabwe obwa bulijjo, era baako by’okola okubayamba, naye tobakaka kukola nkyukakyuka. Abantu be tubuulira bwe basiima ebyo bye tukola okubayamba, tweyongera okufuna essanyu mu buweereza.
MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU—FAAYO KU BALALA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Shanita bwe yatuuka ekikeerezi Anita yalaga atya nti amufaako?
Shanita bwe yagamba nti tajja kusoma olw’okuba tateredde mu birowoozo Anita yalaga atya nti amufaako?
Bwe tufaayo ku balala, kibaleetera okwagala Yakuwa
Shanita bwe yagamba nti si muntu ateekateeka obulungi ebintu Anita yalaga atya nti amufaako?