Bakabona basitudde Essanduuko nga bayita mu Mugga Yoludaani
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Awa Omukisa Abo Abooleka Okukkiriza
Obulagirizi Yakuwa bw’awa oluusi buyinza okulabika ng’obutakola okusinziira ku ndaba ey’obuntu (Yos 3:12, 13; it-2-E lup. 105; laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Abasajja abaaweebwa obuvunaanyizibwa be balina okuteerawo abalala ekyokulabirako nga bakolera ku bulagirizi Yakuwa bw’aba awadde (Yos 3:14; w13 9/15 lup. 16 ¶17)
Yakuwa atuwa omukisa bwe twoleka okukkiriza ne tubaako kye tukolawo (Yos 3:15-17; w13 9/15 16 ¶18)
Bwe tufuba okubuulira wadde nga tulina obulwadde obututawaanya oba embeera endala enzibu, tuwa Yakuwa ky’asinziirako okutuwa emikisa.